Amawulire

Enguudo ezimu mukibuga  Kampala ziggaddwa.

Poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano eggadde enguudo eziva mu bitundu bye Nsambya ne Katwe okuyingira ekibuga,   okusobozesa ebimmotoka biwetiiye ebiri ku mulimu gw’okuddabiriza ezimu ku nguudo mu Kampala okukola obulungi.

Enguudo ezigatta ku Clock Tower okuva  ku luguudo lw’e Katwe wansi okudda e  Nsambya, n’okugatta ku luguudo lwa Ben Kiwanuka ne Nakivubo okuyingira Kampala ziggaddwa.

Poliisi y’ebidduka era erabudde abagoba b’ebidduka abatera okusimba mmotoka zabwe  ku nguudo okuli Market Sreet, Kiyembe Lane ne Dastur Street obutetantala kuzisaako okutandika Thursday 20 July,2023, nti  kubanga mmotoka eziva e Katwe ne Nsambya zakweyambisa enguudo ezo  okutuusa abantu mu kibuga nemu paaka eziriraanyeewo.

Abagoba b’ebidduka abakozesa oluguudo lw’e Entebbe nga bava e Nakasero  bakukozesa okuguudo lwa Sinai Bin.

Omuduumizi wa police y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Rogers Kawuma Nsereko asabye abagoba b’ebidduka bonna okugondera abiragiro ebiyisiddwa okwewala ebiyinza okubatuukako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });