Amawulire

Bishop Samuel Balagadde yeebaziza abakristaayo okukolera ewamu mu bulabirizi bwe Kanyanya

Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Bp Samuel Balagadde Ssekadde asiimye pulojekiti ez’enjawulo ezikoleddwa mu busumba bw’eKanyanya neyeebaza abakristaayo okukolera ewamu.

Ssekadde yagambye nti obusumba bw’e Kanyanya bukulidde ku sipiidi ey’amaanyi nga kati bwebumu ku busumba obulabirizi bw’e Namirembe bwebwenyumirizaamu.

Okwogera bino yabadde atema evvunike ery’okuzimba esomero lya Kanyanya C/U kukitebe ky’obusumba e Kanyanya.

Oluvannyuma yagguddewo ennyumba y’omubuulizi ku kkanisa ya st. Luke esangibwa mu busumba bw’eKanyanya.

Ssekadde era yataddeko abaana 65 emikono ku kkanisa ya St. Paul e Kanyanya ng’akabonero ak’okubakakasa mu maaso ga Mukama.

Yasinzidde wano nasaba abaana okutambulira mu kubo ettufu nga bagoberera mukama Katonda wabwe kuba yayinza byonna ebiyinza okuba nga bibasomooza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });