Amawulire

Buganda etutte abaagala okubba ettaka ly’ eggombolola ya Ssaabawaali Kapeke mu kkooti enkulu e Mubende.

Obwakabaka bwa Buganda bututte abamu ku bantu abaagala okubba ettaka ly’ eggombolola ya Ssaabawaali Kapeke  eriwerako yiika 4 nnamba mu kkooti enkulu e Mubende

“Kabaka wa Buganda yatutte ensonga mu kkooti enkulu e Mubende nga avunaana David Nsubuga, Nnyina Nandawula Victoria Kisomose n’abalala abeekobaana okubba ettaka ly’Obwakabaka eriri mu Kiboga Ttawuni kkanso,” Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika bweyategeezezza bannamawulire e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.

Owek. Bwanika yategeezezza nti Buganda ebadde n’obwannanyini ku ttaka lino okuva mu 1925  nga Buganda yalifuna okuva ku famire y’ omugenzi Teera Munaakulya eyali musajja wa Kabaka ku mulembe gwa  Ssekabaka Daudi Cwa.

Okusinziira ku Bwanika, Teera yafuna sikweya mayiro 8 ku ttaka erimanyiddwa nga Ssingo ku bulooka 655 era ono oluvannyuma yaddiza Buganda yiika 4 ku ttaka eryo olw’obwetaavu obwaliwo nga abantu beetaaga eddwaliro.

Ono yannyonnyodde nti mu myaka gya 1930, Obwakabaka bwateekako eddwaliro nga okusooka lyali lya ssubi wadde oluvannyuma bazimbako ebizimbe eby’obuwangaazi era lizze likozesebwa okuyamba abantu b’ekitundu.

Owek. Bwanika yategeezezza nti mu mwaka 2017 waliwo abasaatuusi abavaayo nga bakulembeddwa Nsubuga nga akozesa Nnyina Kisomose eyali akola mu ttawuni kkanso y’e Kiboga nebafuna ekyapa ku ttaka lino mu kiseera ttawuni kkanso weyali ekolerera enteekateeka y’okumanya obwannanyini ku ttaka lino.

Yagasseeko nti mu bukujjukujju bano basooka kuliwandiisa mu mannya g’omwana omuto Reagan Ssempebwa kyokka oluvannyuma nekizuulwa nti ebiwandiiko byali bijingirire era Kamisona nasazaamu ekyapa.

Owek. Bwanika yategeezezza nti Nsubuga yaddamu naluka olukwe olulala nafuna ebyapa ku ttaka lino okuli ekya Bulooko 655 ne 218 era zino abadde amaze okuzitemamu Poloti okwongera okulweza.

Ssaabawolereza yannyonnyodde nti ensonga eno bazze bagyetereza era bafunye obujulizi obumala era kati nga eyita mu kampuni ya KSMO Advocates bano babatutte mu kkooti.

Kati Buganda eyagala kkooti eyise ekiragiro ekikakasa nti ettaka lino lya Bwakabaka kuba bulibaddeko okumala ebbanga era libadde ligasa bantu.

Era Obwakabaka busaba ebyapa Nsubuga byafunye bisazibwemu kuba Buganda erina entegeeregana nabatwala Ttawuni kkanso wamu ne disitulikiti ye Kiboga.

Owek. Bwanika yategeezezza nti Nsubuga ne banne bayitiddwa dda mu kkooti  era ensonga zigenda kuwulirwa era bakakasa nti bano bakulagirwa obutaddamu kusaalimbira ku ttaka lino.

Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki  yategeezezza nti nga Minisitule bakulondoola ettaka lyonna nga wadde batandikidde Kapeke naye bakutalaaga Obwakabaka bwonna okusobola okununula ettaka lino.

Bino webijjidde nga abantu ba bulijjo awamu n’abakulu mu gavumenti bakyagenda mu maaso n’okwesenza ku mbuga z’eggombolola ez’ enjawulo nekigendererwa ky’okwezza ettaka kweziri.

Kaweefube waffe okufuna Nsubuga ne banne agudde butaka oluvannyuma lw’okukuba ku ssimu zabwe ezituweereddwa nga teziyitamu.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });