Ebyobufuzi

Bobi Wine alabudde abavvoola ekibiina kya NUP

Akulira ekibiina ki National Unity Platform , Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde abamu ku bantu abakozesa engoye z’ekibiina kyakulembera okukakanya ekitiibwa kya Nnamulondo nti tagenda kubagumiikiriza.

Bobi Wine bino abitadde ku mukutu gwe ogwa  Facebook enkya ya leero ku Lwokubiri bw’abadde ayogera ku katambi akalabikidde ku mutimbagano  nga omuwala eyeeyita Nalubwama bwebabadde beekalakaasa e Boston mu Amerika.

“Newankubadde nga tuwagira abantu baffe okwekalakasa mu ddembe nga bawakanya ebibanyiga byonna, kino kyabade kya buswaavu eri ffenna okulaba Nalubwama nga avvoola Maama Nabagereka ne Katikkiro,” Bobi Wine bw’agambye.

Kyagulanyi asabye abantu bonna mu ggwanga okutunuulira ebikolwa bino nga eby’obuntu ssekinoomu kuba si nkola wadde endowooza ya  NUP n’ekisinde ki People Power.

Ono avumiridde enneeyisa eno era nalabula abawagizi babwe ababadde beenyigira mu bikolwa bino okubikomya bunnabiro kuba kiweebula ekitiibwa.

“Abalabe baffe baagala kulaba nga twetemyemu ebiwayi awo balyoke basobole okutufuga nga tetusobola kwegatta kubalwanyisa. Nsaba bonna abavoola ennono nga bambadde ebyambalo byaffe bakikomye amangu ddala,”  Kyagulanyi.

Bobi Wine agamba nti abantu abakola ebikolwa ebivoola embuga balina ebigendererwa byabwe okulaga nti ekibiina ki National Unity Platform kya bulabe eri Buganda ekitali kituufu.

Bino Webijjidde nga Katikkiro Charles Peter Mayiga, yakamala okusaba abavubuka okukozesa obulungi emitimbagano era beewale okutyoboola abalala era nasaba abo bonna abaagala okumanya amawulire amatuufu agafa embuga okukozesa emikutu emitongole era beewale okutwala engambo eziri ku mitimbagano.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top