Ebyobufuzi

Bobi: Lwaki Govt etidde oluyimba lwa ‘Akatengo’

Gavumenti ya NRM ezeemu okusattira oluvanyuma lw’omukulembeze w’ekibiina kya opozisoni, Hon Bobi Wine okufulumya oluyimba olupya ‘Akatengo’ olukunga abavubuka n’abantu abalala okukomya okutitiira baleetewo enkyukakyuka.

Mu luyimba luno Bobi Wine agamba nti bamubbako obuwanguzi azeemu okuwanika amatanga.

Mu kulonda okuwedde Bobi yakunga abantu okumulonda era wadde akakiiko k’ebyokulonda kamuwa obululu obutawera nabitundu 40 ku 100  ye ne Bannayuganda bakimanyi nti Bobi yeyawangula.

Mu biseera ebyakulembedde okulayira kwa Pulezidenti Museveni amagye ne securite baasoose kusalako maka ga Bobi Wine olw’okutya ebidirira.

Ensonda mu nkambi y’ekibiina kya Bobi Wine ekya NUP zaategeezezza nti NUP y’abadde n’akafubo gyebuvuddeko ne kisalwawo basooke baleke okulayira kuggwe n’oluvanyumba ziddemu okwabika emipiira.

Kino bagamba nti baakikola okutaasa obulamu bwabantu olwomusaayi ogwandiyiise singa Bobi yagezaako okulemesa Museveni okulayira.

” Amagye, Drone ne buli bibinja ebikambwe bya Mw .Museveni byabadde byetegese okutulisa buli kiramu ne tubatebuka” omu ku ba NUP bwe yagambye.

Kyokka yagaseeko nti balina entegeka okutunka ne Museveni okulaba nti bamuyabya n’okumulabisa mu Kisanja kino kabekasinge aleme nakukimalako.

Balagidde Bobi Wine addemu okukuba enkungraana oba okukunga abantu okuddamu okulwanirira bwe bagamba nti buwanguzi bwabwe.

Bobi Wine kigambibwa nti ngogyeko okukuba enkungaana ezolukale alina nenkizo okukuba enkungaana ng’ayita mu nyimba enkambwe nga ‘Akatengo’ ezituusa obubaka mu bantu ate nga poliisi terina  bwesobola kuziziyiza.

Oluyimba olupya olwa ‘Akatengo’ lw’ogera ku balumbaganyi abaava ebunaayira ne balya eggwanga lino nga Kati bafuuse ba ” sserwajja okwota”.

Nti bajja badaaga kyokka Kati bakajadde, bajja banaku wabula Kati bagaggaddewadde tebamanyi musenzi. Bano babba buli kantu nti n’ettaka tebalitaliza batuuse n’okutwala lye baaziikako edda abafu b’abantu nti naye eddagala liri mu kukomya butitiizi lumu bakulinyibwa ku nfeete.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top