Amawulire

Owek. Christopher Bwanika yasabye abantu okwettanira enteekateeka z’obwakabaka.

Ssaabawolereza wa Buganda era minisita wa gavumenti ezebitundu Owek.  Christopher Bwanika yakalaatidde abantu ba Kabaka okwongera okwenyigira n’okuwagira enteekateeka z’obwakabaka nga erimu ku makubo g’okuzza Buganda ku ntikko.

Bino yabyogeredde mu kutikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 13 okuva mu banna Ssingo ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.

Owek. Bwanika abantu ba Kabaka yabasabye okwegattira mu bibiina eby’enjawulo ebitandikiddwawo Obwakabaka kibayambe okwekulaakulanya beegobeko obwavu.

Yabakuutidde okwongera okunyweza obumu mu buli kyebakola kuba lye kkubo erigenda okubatwala mu maaso n’okuzza Buganda ku ntikko.

Ye Minisita omubeezi owa gavumenti z’ebitundu Owek. Joseph Kawuki yawadde abantu ba Kabaka amagezi okuba abamalirivu nokwesigama ku bumu okusobola okukuuma ettaka erisulirira okutwalibwa bannakigwanyizi.

Abaami abakulembeddemu abantu bano nga bakuliddwa Ssentebe wa disitulikiti ye Kiboga, Ssaalongo Nsiirwe Gerald Wavamunno, baategeezezza minisita Bwanika nga ekibattaka bwekibasuza nga tebeebase mu bintu byabwe so nga n’abantu b’Omutanda obwavu bubasuza ku tebuukye.

Eggombolola ezikiise embuga kuliko;  Mutuba 6 Lwamata , Mutuba 11 Kibiga, Ssaabawali Kapeke ne  Mutuba 13 Muwanga.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top