Ebyobufuzi

Ebitiisa ku William Ruto, Pulezidenti wa Kenya omulonde.

Kitaawe ye Daniel Cheruiyot ne Nnyina  Sarah Cheruiyot eyalabiseeko mu kulangira mutabani we ku buwanguzi ku mande.

Akakiiko  kebyokulonda mu ggwanga lya Kenya olunaku lwa mande kaalangiridde Pulezidenti ow’okutaano oluvanyuma lwa kalulu akakasameeme akaakubwa ku lw’okubiri lwa sabiiti eyayita.

Gye byaggweredde nga munnakibiina kya United Democratic Alliance William Ruto alangiriddwa ku buwanguzi. Ruto yafunye obululu 7,176,141 nga bye bitundu 50.49 ate munne Raila Odinga bwe baabade ku mbilanye naafuna obululu 6,942,930 nga bye bitundu 48.6.

William Samoei Arap Ruto nga ono yabadde omumyuka wa Pulezident wa Kenyan era munnabyabufuzi ateerya ntama ono ye Ssenkulu we kibiina ki United Democratic Alliance nga ekibiina kino yakitandika oluvanyuma lw’okukizuula nti abadde mukamaawe Uhuru Kenyatta alabika yali ssi mwetegefu kumuwagira mu kulonda kwa 2022 yadde nga baali bamaze emyaka 9 nga balinnya mu kimu.

Ruto era yaliko omubaka mu lukiiko lwe Ggwanga lya Kenya olukulu wansi we kibiina kya Jubilee Alliance okuva mu mwaka gwa 1998 okutuusa mu 2013. Ono era yaliko Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amaka ku mulembe gwa Pulezidenti Daniel Arap Moi, era ne ku mulembe gwa Pulezidenti Mwai Kibaki ye yali Minisita avunanyizibwa ku by’obulimi.

Obuzaale bwa Ruto

Yazaalibwa nga 21 December 1966 mu kitundu kye Sambut, Kamagut, mu Ssaza lye Uasin Gishu.

Kitaawe ye Daniel Cheruiyot ne Nnyina  Sarah Cheruiyot eyalabiseeko mu kulangira mutabani we ku buwanguzi ku mande.

Ono yasomera Kerotet Primary School bwe yamala ekibiina eky’omusanvu ne yegatta ku Wareng Secondary School nga wano agamba nti we yatandikira okwambala ku ngatto mu bigere bye.

Yeyongerayo mu ssomero lya Kapsabet Boys High School mu Ssaza lye Nandi era oluvanyuma yegatta ku Ttendekero lya University of Nairobi gye yafunira Diguli ye ayasooka mu by’obulimi n’obulunzi mu mwaka gwa 1990.

Oluvanyuma yeyongerayo naakola Diguli ey’okubiri mu kunoonyereza ku bimera era naakuguka ku ddaala lya PHD mu ssomo lye limu mu Univesity of Nairobi mu mwaka gwa 2018.

Ruto bwe yali mu Ttendekero ekkulu e Nairobi nga asoma ajjukirwa nnyo okubeera omu ku bayimbi be nnyimba ze ddiini nakinku mu kwaya ye Ttendekero lino nga kino ekitone agamba nti yakijja ku bazadde be n’okutuusa kati abayimbi be nnyimba ze ddiini.

Agamba nti olw’okuba yali muyimbi okukira enyonza, bwatyo yasobola okusisinkana Pulezidenti Daniel Arap Moi eyali amulabyemu omulimu omulungi gwe yakola nga ye mukulembeze wa kwaya bwatyo naamusikiriza okuyingira eby’obufuzi mu kulonda kwa 1992.

Ruto musajja mukozi

Ruto yaliko omusuubuzi we nkoko ez’okulya ku nguudo ze kibuga Nairobi nga eno yasikirizibwa okwagala okulunda nga mu kiseera kino yoomu ku bantu abasing faamu ye nkoko ennene mu Kenya ku kyalo kye Sugoi era nga akozesa abantu bangi ddala.

Kigambibwa nti ono alina amakkampuni mangi ddala omuli ne lya mafuta elimanyiddwa nga Stabex eliwadde abavubuka abayitirivu emirimu mu Kenya n’amawanga amalala mu East Africa.

Bwe yamala misomo gye ku yunivasite yasooka kusomesaako mu massomero ag’enjawulo mu bitundu bya North Rift wakati w’emyaka 1990 – 1992 nga eno yatendekerayo abaana bangi okuyimba enyimba ze ddiini mu makkanisa ag’enjawulo.

Atandika eby’obufuzi mu YK’92

Ruto yatandika olugendo lwe mu by’obufuzi bwe yalondebwa okubeera omuwanika mu kibiina kya YK’92 nga kino kyali kilina ekigendererwa ky’okuzza Pulezidenti Arap Moi mu buyinza mu mwaka gwa 1992 nga okuva ku olwo teyadda mabega n’okutuusa kati.

Emirundi mingi yagezaako okulwana okuyingira obukulembeze bwe kibiina kya KANU ekibiina ekyali mu buyinza ebiseera ebyo kyokka n’alemwa ekyamuleetera okwesimbawo nga omuntu ku kifo ky’obubaka mu 1997ekyewunyisa nawangula  Reuben Chesire musajja wa Pulezidenti Moi eyali amaze ebbanga eddene nga yakulembera ekitundu kya Uasin Gishu.

Wano Pulezidenti Moi yayongera okumwesiga era naamulonda okufuuka Minisita era naamusembeza okumpi ne Uhuru Kenyatta gwe yali alowooza okumuddira mu bigere ekiseera ekyo.

Mu January wa 2006 Ruto yalangirira nga bwagenda okuvuganya ku kifo ky’obwaPulezidenti mu Ggwanga lya Kenya mu kulonda okwali kugenda okubaawo mu mwaka 2007 olwo nga yegasse ku kibiina kya ODM era ne bagenda mu kamyufu ke kibiina mwe yawangulirwa Raila Odinga nga yafuna obululu 368 bwokka munne Raila naafuna 2,656 era nasalawo okuwagira Raila Odinga oluvanyuma eyawangulwa Mwai Kibaki mu December wa 2007 wabula Odinga ne banne ne bagaana okukkiriza ebyava mu kulunda.

Oluvanyuma Kibaki ne Odinga bakkiriziganya okutondawo enkola ey’okugabanya obuyinza era Ruto eyali amaze okufuna ekifo mu lukiiko lwe Ggwanga olukula nga akiikirira ekitundu kya Eldoret North yawebwa obwa Minisita bwe by’obulimi n’obulunzi mu Gavumenti y’omukago mu mwaka gwa 2013.

Yakolako nga Pulezidenti ow’ekiseera

Ruto yaliko omukulembeze wa Kenya ow’ekiseera okuva nga 5 okutuusa nga 8 October 2014 mu kiseera Pulezidenti Uhuru Kenyatta gwe yali amyuka bwe yatwalibwa mu kkooti ye Nsi yonna olw’ebikolobero eby’akolebwa ku bannaNsi mu kulonda kwa 2013.

Nga  6 October 2014, Ruto yalondebwa mu butongole okufuuka omumyuka wa Pulezidenti era ne mu  August 2017 era naddamu okulondebwa mu kifo kye kimu.

Olugendo lwe okufuuka Pulezidenti wa Kenya

Mu December 2020 Ruto yalangirira nga bwagenda okwesimbawo ku bukulembeze bwe Ggwanga lya Kenya era ye ne banne ne batondawo omukago gwa United Democratic Alliance party oluvanyuma lw’okukizuula nti munne bwe baali bakulembedde bannaKenya okumala emyaka 10 Uhuru Kenyatta yali maze okumulekulira nga asazeewo okuwagira gwe baali bavuganya naye Raila Odinga.

Agamba nti kin o yali akisuubira olw’ensonga nti ye baamulabanga nga omuntu atalina musingi mugumu mu byabufuzi okuva mu kika kye era nga bamunyooma.

Engombo kwazze atambuliza kkampeyini ze mubaddemu nti Kenya kye kiseera okufuna omukulembeze nga mwana wa munaku kubanga abagagga bawereddwa omukisa okufuga ebbanga ddene.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });