Amawulire

Ebiwandiiko bya Sacco ebiisoba mu 1,000 bigobeddwa.

Ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga eriko ebiwandiiko bya Sacco 1,050 eza Parish Development byegobye negaana okubiwa ensimbi olwóbutaba na bisaanyizo.

Ebibalo ebivannyuma ebifulumiziddwa ministry y’ebyensimbi ku nteekateeka ya parish Development model, biraze nti werutuukidde olwaleero nga sacco za Parish development model  eziwerera ddala 8,878 ezeewandiisa nezituukiriza ebisaanyizo zaamaze dda okufuna ensimbi eziweza obuwumbi 221 n’obukadde 950.

Ministry  y’ensimbi mu ngeri yeemu egambye nti waliwo sacco za PDM 666 ezaaweerezza ebiwandiiko byazo nebiyitamu era zigenda kufuna ensimbi essaawa yonna zekulakulanye.

Government yatongozza emiruka 10,594 egiri mu ggwanga lyonna, ezigenda okutambulizibwako enteekateeka ya Parish Development Model.

Mu mwaka gw’eby’ensimbi guno ogugenda mu maaso 2022/2023, parliament yayisa trillion 1 n’obuwumbi 49 nezisindikibwa mu nteekateeka eno eyénkulakulana.

Okusinziira ku muteesiteesi omukulu mu minsitry yébyensimbi Ramathan Goobi, omwezi gwa January oguyise 2023, obuwumbi bwa shs 750 zezaali zakasindikibwa  mu parish development model ,newankubadde amaloboozi agazze gava mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo galaga nti ensimbi ezo tezituukangayo, nenteekateeka yennyini eya Parish model tebagitegeera.

Wiiki ewedde sipiika wa  parliament yasindiika ababaka mu bitundu byabwe okumala ebbanga lya wiiki 2 bekeneenye enteekateeka eno eya Parish model ,bakole alipoota bazitwale mu parliament.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top