Amawulire

President M7 aweereddwa omudaali ogusingayo.

Museveni agambye nti amagye ga government ezasooka genyigira nnyo mu bikolwa ebyóbulyake nóbukenuzi saako okutulugunya abantu, ekyaviirako bannansi okwetamwa abajaasi.

Alabudde amagye ga UPDF obutagezaako kwenyigira mu bikolwa ebyo, byagambye nti bimuwunyira zziizi.

Mu ngeri yeemu abalagidde okukola ebikwekweto okufuuza abantu abesenza mu ntobazi, nti bebamu ku bavuddeko okwonoona obutonde bwénsi.

President Museven atuuse ku kisaawe e Kakyeka ewategekeddwa emikolo emikulu egyókujjukira emyaka 42 egya Terehe sita, ku saawa mukaaga n’eddakiika  50, ng’atandise  nakulambula nyiriri z’abasirikale, ne banaddiini okusabira omukolo.

Eggye ya UPDF lijaguzza emyaka 42 bukyanga balwanyi ba NRA balumba enkambi ye Kabamba mu district y’e Mubende nga 06 February 1981, mu lutalo olwamaamulako government ya Milton Obote olwamala emyaka etaano.

Olutalo luno lwaduumirwa Yoweri Kaguta Museven, nga kati ye President wéggwanga asiimiddwa olwaleero náweebwa omudaali ogusingayo ekitiibwa ogwa Katonga Star.

Omudaali guno gumwambaziddwa ssaabalamuzi Alphonse Owinyi Dollo.

Abalala abasiimiddwa nebawebwa emidaali kuliko Caleb Akandwanaho , Gen.Ivan koreta, Brig. Steven Kiggundu, Brig. Gen.Deus Sande n’abalala.

Amawanga okuli Mali, Somalia, South Africa , Burundi námalala gaweerezza ababaka mu mukolo guno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });