Ebyobufuzi

Gen Sejusa atabuse ne M7 kuwummuza Nadduli n’abalala n’amuleka ebbali

Gen Sejusa atabuse ne M7 kuwummuza Nadduli n'abalala n'amuleka ebbali

Ntebe Genero David Sejusa azeemu okunyiiga era atiisizza okukolawo akatiisa ng’entabwe eva ku Pulezidenti Museveni kumukuumira mu magye ku kifuba.

Ensonda okuva e Naguru , Gen Sejusa gyasula ngamagye gamukuuma okukakasa nti tatabula ggwanga zaategeezezza nti Kati wiiki nnamba ngasiiba yeesooza, okuluma emba n’okulaba bwaddamu okupanga.

Zaayongeddeko nti Sejusa azze ategeeza banywanyibe nti tamaanyi Museveni kyamwagaza na gyebigenda kukoma.

Bino byonna bidiridde Museveni okuddamu okuwummuza abajaasi bwe baali mu nsiko ne Sejusa n’abalala abasoba mu 600 kyokka Sejusa eyasaba edda ne kkooti mu 2015 nekkiriza awummule kyokka amagye ne gamulemera.

Waliwo ebigambibwa nti gavumenti etya nti amafandali ga Sejusa okugakakanya alina kusigala mu UPDF.

Era Pulezidenti Museveni bwe y’abadde awummuza bannansiko banne ne Bannamagye abalala abatanudde Sejusa yabalabudde ku kuwummula amagye kyokka ne batandika okufuuka ekizibu.

Muno mulimu okwogera amafukuule, okwagala okw’esimbawo , okukola efujjo nokufuuka ekizibu.

Okusooka Museveni yategeezezza nti beyakkiriza okuwummula beeyise bulungi nokukozesa obulungi ssente z’akasiimo nga mu bano mwabaddemu ba Genero 14 n’abalala omwabadde ne Maj Hajji Abdul Nadduli.

Bano kwabaddeko nnamba RO/16504 Brig Al-Hajji Moses Kigongo eyatandika ebyobukiiko bea LC mu nsiko NRA gye yawambanga,RO/00170 Brig Shaban Moses Lukyamuzi eyasooka okuzimba ebyempuliziganya yabayeekera eya Signal Unit mu nsiko,of the NRA. RO/16506 Capt. Nathaniel Mayanja Kitaka eyakolanga mu ddwaliro lyekiyeekera okukebera abalwanyi omusaayi,Maj Gertrude Nanyunja Njuba eyakuumanga ebiwandiiko byebyama ne  Maj. Hajjat Jannat Balunzi Mukwaya eyakuliranga kkooti mu nsiko kubanga yali mulamuzi w’eddaala erisooka weyagendera mu nsiko.

Abalala  abawummudde ye Gen Ivan, Koreta, Lt Gen Pecos Onesmus Kutesa, Lt Gen Jim Beesigye Owoyesigire, Maj Gen Amb Robert Rusoke, Maj Gen Fred Mugisha, Maj Gen Christopher Murema Kazoora, Maj Gen Moses Ddiba Ssentongo, Maj Gen Innocent George Oula, Brig Al-Hajji Moses Kigongo, Brig Jacob Asiimwe, Brig Shaban Moses Lukyamuzi, BrigJohn Kasaija, Brig Muhamed Abiriga , Brig Frank Kanyarutokye,

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top