Ebyobufuzi

Ekisinde Kya Dr. Besigye kikyankalanyizza aba NUP

Ekisinde Kya Dr. Besigye kikyankalanyizza aba NUP

Ku lw’okuna lwa wiiki ewedde abakulu be bibiina 7 okugyako ekya NUP begasse ne batondawo ekisinde ekyatumiddwa People’s Front for Transition Red Card  wansi w’engombo “Twetaase” ng’emikolo egyokukitongoza gy’abadde ku kitebe Kya JEEMA e Mengo.

Abamu kubali  mu kisinde kino bazze bavuganya mu bibiina ebyenjawulo kyokka ne bawangulwa nga kuno kuliko pulezidenti wa CP Jonh Ken Lukyamuzi, Lubega Mukaaku, Mike Mabikke, omuloodi Ssalongo Erius Lukwago, John Mabiriizi, Asuman Basalirwa, pulezidenti wa FDC  Patrick Obiye Amuriat, eyaliko pulezidenti we FDC Kizza Besigye n’abakulu abalala bangi.

Mukaaku yagambye nti mu kisinde kino, basuubira bannabyabufuzi abalala bangi abali mu palamenti okubegattako okusobola okununula Uganda mu kulonda kwa 2026. Yagambye nti nga batandika ekisinde kino,bawandiikira ebibiina byonna ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti nga babategeeza ku kisinde kino era nga babasaba okubegattako okutema empenda gye bagenda okutwalamu obuyinza mu kulonda kwa 2026, kyokka aba NUP ne batabaddamu era n’omukolo ne baguzira.

Ono era yalumbye abakulu mu kibiina Kya NUP n’abalangira nga bwe balina ebigendererwa byabwe, bwe bamala okulondebwa, ne baweebwa n’obufo bwe balimu, balowooza nti batuuka gye balaga  tebagala kumanya bikwata n’ebiruma kubanna Uganda.

“Tukooye eby’obufuzi ebyakazannyirizi ebyeyongedde ennyo mubanabyabufuzi ba Uganda, kuba bibeera biswaza oludda oluvuganya gavumenti n’okulowozesa be tuvuganya nti tuli mukatemba” Mukaaku bwe yayongeddeko.

Mukaaku ne Mabikke bebamu kubaanabyabufuzi abaddukira mu kibiina kya NUP nga bava mu DP, kyokka oluvannyuma abakulu mu kibiina kino bwe Bali basunsula, babamma kaadi y’ekibiina ne besimbawo ku independent era nebagwa, nga Kati bebamu kubanene mu kisinde kino.

Aba NUP bogedde:

Omwogezi wa National Unity Platform Joel Ssenyonyi yagambye nti ekibiina Kya NUP muti ogutasobola kusitukira nnyonnyi nga bo bwe bagala. Ono yagambye nti balina ekisinde Kya People power, tebalaba nsonga ebegassa ku kisinde kirara nga bonna balina ekigendererwa kimu ekyokugyako pulezidenti Museveni ne gavumenti ye.

Ssenyonyi yagambye nti abantu abali emabega w’ekisinde ekyo babamanyi bulungi era bamanyi n’abakozesa n’ebigendererwa byabwe, n’olwekyo tebayinza kuyingira mu mutego ogutegeddwa nga balaba.

Lukyamuzi ayogedde:

Eyaliko omubaka wa Lubaga South mu palamenti era nga ye pulezidenti wa CP Jonh Ken Lukyamuzi era nga y’omu kubali mu kisinde kino  agambye nti bakooye ebisinde by’obufuzi okumerukawo buli kadde mu biseera by’okunooya akalulu ne batabula eby’obufuzi bye gwanga, era yensonga lwaki batandiseewo ekisinde kino ng’obudde bukyaali, era nga balina essuubi nti kigenda kuzibula abantu bangi omuli ne Bannabyabufuzi amaaso.

Ono yategezezza SSEKANOLYA nti bbo tebalina gwe bazze kulwanyisa ng’abantu abamu bwe babitebya, wabula bazze kutereeza bya bufuzi bya gwanga lino.

“Twagala abantu bonna mu opozisition tutambulire mu kisinde ekyo ekigezako okugamba pulezidenti Museveni nti ebibiina by’obufuzi ssi NGO era ssibatunulizi ba byabufuzi, naye bateekawa buteekwa okwenyigira mu lwokano lw’okuvuganya emirembe mu by’obufuzi bya Uganda” Hon.Ken Lukyamuzi bwe yategezezza.

Col.Kizza Besigye ye yalondeddwa nga sentebe w’ekisinde kino n’amyuukibwa omuloodi wa Kampala Ssalongo Erius Lukwago.

Gyebuvuddeko omubaka wa makindye East Allan Ssewannyana yagamba nti singa ebintu tebitambula bulungi mu NUP waddembe okwegatta ku FDC omuli Lukwako ne Besigye oba okudda mu DP.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });