Amawulire

Ezimu kummundu ezikozesebwa okunyagulula abantu mu Kampala, zizuuliddwa.

Police  n’ebitongole bya bambega ebirala biri ku muyiggo gw’abantu mukaaga ,ku bigambibwa nti balina kyebamanyi ku by’emmundu ezikozesebwa okunyagulula abantu mu Kampala.

Abantu babiri bebaakakwatibwa okuli Erias Mubiru omugoba wa bodaboda ne Nsubuga Ismail bakwatiddwa n’emmundu 3 mu bitundu by’e Kyebando mu Nansana municipality.

Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti okukwatibwa kw’ababiri bano kwakubayamba okuzuula abalala abakyekukumye.

Emmundu endala ssatu ziggiddwa ku bakaramoja ababbi b’ente mu district ye Abim newabaawo abazigu basatu abattidda, ssonga mu district y’e Kotido abakaramoja abakambwe bana bakubiddwa amasasi agabattiddewo n’emmundu bbiri neziboyebwa.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });