Amawulire

Gavumenti ye Uganda eyogedde ku lutalo lwa Sudan.

Pulezidenti Museveni wamu ne gavumenti basabye ebibinja ebibiri ebirwaganagana e Sudan okuli eggye lya Sudan li Sudanese Armed Forces nga likulemberwa Abdel Fattah Abdelrahman al-Burhan n’akabinja akamanyiddwa nga Rapid Support Forces akadduumirwa  Gen. Mohamed Hamdan Dagalo okussa wansi emmundu batuule ku mmeeza emu bogerezeganye.

Bino bitegezeeddwa minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga John Mulimba bwabadde ategezeezza palamenti ku butya Uganda weyimiridde ku lutalo lw’obuyinza oluyinda e Sunda wabula nga bannalumanya ne ssaalumanya bangi balufiriddemu.

Mulimba agambye nti pulezidenti yamaze dda okwogerezeganya ne ssentebe w’ekibiina ki African Union Commission wamu n’abakulembezze abalala mu mawanga ga Africa wansi wa IGAD ne bakkaanya bwebagenda okulaba nga olutalo luno lukomezebwa mu bunnambiro.

Agaseeko nti gavumenti ekola bukubirire wamu n’amawanga amalala okwekenenya embeera eno era nga basabye abalwanyi bombi buli omu okukakkanya obusungu kubanga entalo tezimalawo bumulumulu okuggyako nga batudde ne bakkaanya ku kiki ekiyinza okubawa emirembe bombi.

Ategezeezza nga minisitule bweyakwataganye edda n’ebibiina bya bannayuganda ebiri e Sudan naddala mukibuga Khartoum okulaba nga bafuna ekifo ewatali bulabe webagenda okukuumira bannayuganda mu mbeera eno nga emundu ekyaseka.

Embasse akakasizza nti mu kadde kano bannayuganda abali e Sudan bali 300 nga kuno kuliko 120 abakolera emirimu mu Khartoum, abayizi 116 mu matendekero ag’enjawuo, abalwadde wamu n’abakola mu malwaliro 14 kwosa n’abalala 19 ababadde ku lugendo olwokera e Mecca wamu n’abalala 6 ababadde bagenze okyalako e Khartoum.

Minisita agambye nti bakyagenda maaso n’okunoonya bannayuganda abalala era nasaba alinayo omuntu we amugambe ategeezze ekitebe kyabwe ekiri e Khartoum

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top