Amawulire

Minisita Nandutu poliisi emukutte .

Ekitongole kya bambega ba poliisi  ekinoonyereza ku misango kiwadde minister Omubeezi ow’ensonga ze Kalamoja Agnes Nandutu amagezi agende ku poliisi  akole statement ,ku bigambibwa nti yoomu ku beegabanya amabaati g’abawejjere b’e Kalamoja.

Minisita Agnes Nandutu police  egamba nti okuva lweyamuwandiikira wiiki ewedde  talabikangako, kyokka nga yetaagibwa abeeko byannyonnyola.

Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti bakyalinzeeko minister Nandutu agende yeyanjule eri police, kyokka singa tateeka mu nkola kusaba kwa police yandikwatibwa ku mpaka.

Mu ngeri yeemu police erabudde bannamawulire begambye nti bawandiika amawulire agasasamaza , omuli  amawulire agoogera ku bifo ba minister abatanakwatibwa gyebasula nti n’abamu gyebekwese  nti tegasaanidde.

Wofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti eteekateeka fayiro za ba minisita  abawerako abagambibwa nti begabanya amabaati g’abawejjere e Kalamoja bavunaanibwe.

Fayiro za ba minisita 2 zezibadde zakamala okukolebwako wofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti nebakwatibwa poliisi, n’oluvannyuma nebatwalibwa mu kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi okuli minisita w’ensonga ze Kalamoja Mary Gorret Kitutu ne minister Amos Lugoloobi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });