Amawulire

Bannamawulire balabuddwa obutawubisibwa bantu bateeka byabufuzi mu pulojekiti za Gavumenti.

Bannamawulire mu ggwanga balabuddwa obutawubisibwa bantu abateeka ebyobufuzi mu pulojekiti za gavumenti ez’enjawulo wabula bazettanire basobole okwekulaakulanya wamu n’okweggya mu bwavu.

Bino byayogeddwa omukwanaganya w’emyooga mu Wakiso, Harriet Nampero bwe yabadde yeetabye mu ttabamiruka w’emyooga gya bannamawuliire ba diviizoni y’e Nansana n’agamba nti bano bafubye okubeera ekyokulabirako era nga balina okwewala okuyingiza enjawukana z’ebyobufuuzi mu bukulembeze bwabwe.

Nampero yagambye nti ebibiina bingi ebya bannamawuliire bigudde wabula ekya Nansana Division Journalist Emyooga SACCOo ne kisigala nga kigenda mu maaso.

Yasiimye obukulembeze bwabwe bwe yagambye nti bulimu obwerufu saako n’okukwatiza awamu.

Mu lutuula luno bannamawuliire bano baayisizza ebiteeso ebyenjawulo eby’okwenyigira mu pulojekiti ezitali zimu omuli okutimba ku mikolo, okukwata ebifaananyi n’ebirala okubayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe era bakulaakulane.

Ssentebe w’ekibiina kino, Farouk Mutendwa, yasinzidde wano n’asiima akakiiko k’akulembera nako k’agamba nti kakoze buteebalira okulaba nga emirimu mu kibiina kino gigenda mu maaso kyokka n’alaga okutya olwa bammemba abeewola ssente kyokka ne bagaana okuzikomyawo nga balowooza gavumenti yabawa kasiimo ky’agamba nti kizing’amizza empeereza.

Abakungu okuva ku munisipaali e Nansana nga bakulembeddwa avunaanyizibwa ku byenfuna(financial officer) ssalongo Samuel Sserubiri, basabye bannamawulire b’e Nansana okwongera okutereka ssente bazeewole okwekulaakulanya mu kifo ky’okutunuulira omusaala gw’oku mulimu wabula bagaziye endowooza yaabwe nga beenyigira mu miriimu emirala okulaba nga bakulakulana.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top