Amawulire

Kitalo! Omuvubuka asse muganda we lwa 2000

Poliisi e Kibaale eriko omuvubuka wa myaka 25 gwekutte ku bigambibwa nti ono yasse muganda we olwa silingi 2000 zabadde yamuwola wabula nagaana okuzimusasula.

Omukwate ye Pascal Busobozi nga ye yasse muganda we Fred Asiimwe ow’emyaka 16 nga bonna batuuze ku kyalo Igomero – Kayoola mu ggombolola ye Bwamiramira.

Entiisa eno yabaddewo ku ssaawa ttaano ez’ekiro ku lunaku lwa Mmande era kigambibwa nti Busobozi abadde amaze ennaku nga abanja Asiimwe sente zeyamuwola ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Ab’oluganda bano basitudde olutalo oluvannyuma lwa Asiimwe okulemererwa okusasula ekyaleetedde Busobozi eyabadde akutte akambe okukamufumita mu lubuto.

Wano Asiimwe yatandise okuvaamu omusaayi  nga mungi era naddusibwa mu ddwaliro lya Emesco Health Center III  abasawo gyebakakasirizza nti yabadde yafudde.

Akulira enju ab’oluganda bano mwebava,  Edward Kyaligonza yategeezezza omuntu gwa URN ku Lwokubiri nti yawulidde Asiimwe nga alaajana asaba obuyambi kwekugenda gyali era wano yamusanze ali mu kitaba ky’omusaayi.

Okusinziira ku Kyaligonza wano yakubye enduulu abatuuze nebajja nebaddusa Asiimwe mu ddwaliro gyeyafiiridde nga yakatuusibwayo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Albertine, Julius Hakiza,  agamba nti wamu n’abatuuze batandikiddewo omuyiggo nebakwata Busobozi.

Okusinziira ku Hakiza baasobodde n’okufuna akambe, Busobozi keyakozesezza okutta muganda we nga konna kabunye omusaayi.

Hakiza annyonnyodde nti kati Busobozi ali mu mikono gya poliisi era akadde konna wakutwalibwa mu kkooti abitebye.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top