Ebyobufuzi

Ssaabalamuzi Dollo asabye Ssaabaminisita Nabbanja obutayingirira ssiga ddamuzi

Ssaabalamuzi w’eggwanga, Alphonse Owiny-Dollo awadde Ssaabaminisita Robinah Nabbanja amagezi ebiseera bye abimalire ku bizibu by’eggwanga mukifo ky’okwagala okutereeza zayita ensobi mu kitongole ekiramuzi.

Dollo bino yabyogeredde mu lukung’aana lwabuli mwaka olwa bawandiisi ba kkooti awamu n’abalamuzi ba kkooti esookerwako olwayindidde ku Mestil Hotel mu Kampala.

“Njagala okukkiriza nti mwanyinaze yakoze ensobi, mu mbeera za bulijjo muntu mulungi naye amaanyi yagateeka wansi,” Ssaabalamuzi Dollo bw’agambye.

Kino kiddiridde Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okulumba kkooti esookerwako e Mmengo nakunya omulamuzi wa kkooti eno, Magezi ku bigambibwa nti ono teyateekawo bwenkanya bweyali asindika omukyala Gertrude Nalule mu kkomera e Luzira olw’okulemwa okusasula ssente zeyeewola ku mulirwana  Godfrey Bazaale.

Ekikolwa kya Ssaabaminisita Nabbanja byatabudde Ssaabalamuzi Owiny Dollo nawandikira abatwala kkooti eno nga asaba bamunnyonyole ku kituufu ekyaliwo nga Ssaabaminisita akunya omulamuzi.

Oluvannyuma lw’okufuna oludda lw’omulamuzi, Dollo agamba nti Nabbanja wadde yagenderera kukola bulungi naye obulungi buno abuteeke awalala si mukitongole kiramuzi.

Okusinziira ku Ssaabalamuzi eggwanga lirina ebizibu bingi omuli okuggalawo kwe bbibiro lya Isimba elyaggaddwawo nga lyakamala okuggulwawo.

Dollo annyonnyodde nti amalwaliro tegalina ddagala ate abalala tebalina masanyalaze nga yeewunya lwaki amaanyi agatadde mu ssiga ddamuzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top