Amawulire

Kitalo! Omuzira Angellina Nabakooza afudde

Omuzira wa Buganda omukadde Angellina Nnabakooza owe Mawogola afiridde mu maka ge mukiro ekikeesezza Olwokuna ng’ono abadde wa myaka 103

Nnabakooza y’omu ku baakweka Kabaka sir Edward Muteesa II mu 1966, ng’amagye ga Obote galumbye olubiri lwe.

Abadde awangaalira ku kyalo Nsambya Mutuba I Lugusuulu mu ssaza Mawogola mu disitulikiti ye Ssembabule, era gyeyakweka Kabaka Muteesa II okumala ennaku 21, nga Obote alumbye Olubiri ku lwa 27 May,1966.

Nabakooba ajjukirwa nti wadde nga  Milton Obote yali ataddewo ensimbi eziwera emitwalo 25 nga zino zaali butitimbe mu kiseera kino nga kati bwandibadde obukadde 40-60 eri omuntu yenna amawulire agakwata ku Ssekabaka Muteesa yaguma namukweka nataasa  Kabaka we.

Olw’omulimu guno, Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga ye mutabani wa Ssekabaka Muteesa II yamuzimbira ennyumba ng’ekirabo era nagimukwasa mu 2009.

Okusinziira ku musawo ku ddwaliro lya Mutuba I Lugusuulu, Hamidah Nantume, omukadde Angellina Nabakooza yabategeezezza olunaku lwajjo nti yabadde atawanyizibwamu ki ssenyiga n’omutima okwewuuba.

Musawo  Nantume agamba  nti olunaku lw’ eggulo ku Lwokusatu omukadde Angelina era yafiiriddwa muwala we era naziikibwa e Sserinnya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });