Ebyobufuzi

Kumi Abasiraamu Bagobye District Kazhi Lwa Nsimbi Za UNRA

Abasiraamu Kumi Bagobye District Kazhi Lwa Nsimbi Za UNRA

Abasiraamu mu district ye Kumi bavudde mu mbeera ne banaabira district kazhi sheikh Abdul Wahab Kawuta mu maaso ne bagattako okumulumiriza nga bwavuluze ensonga zo Busiraamu nga kwotadde n`okusibisa abamuwakanya mu makomera ne babassaako ebisango , era bamulumiriza abamu okubakolako alipoota nabawaayiriza mu beby`okwerinda nga bwe bali aba ADF era abasinga  bakyaali mu makomera, Abasiraamu bekalakaasizza ne bawanika ebipande era kyebasookerako kwe kuggala ofiisi ya sheikh Kawuta.

Mu lukiiko lwa ba sheikh ne ba Imaam abava mu distict ye Kumi nga eno etwaala district okuli Ngora, Bukedea ne Kumi yennyini nga olukiiko lwatuusiddwa ku ssomera lya Kumi Township PS  nga lwakubiriddwa ne ssentebe wa district Emokorait Abudallah, nga luno lwajje obwesige n`okulangilira nga sheikh Kawuta takyaali district kazhi we Kumi. Bagamba bawandiikidde mufti sheikh Shaban Mubajje okuyingira mu nsonga ze Kumi, naye kati emyaaka 5 talinnyangako Kumi kulamula Busiraamu

 

Sheikh Abdul Wahab Kawuta abasiraamu gwe bagobye ku bwa district Kazhibwe Kumi

Mu nsonga endala ze balumiriza sheikh Kawuta mulimu okubulankanya ensimbi UNRA ze yalina okusasula essomero lya Kumi Township PS bweyakola oluguudo lwe Pallisa – Kumi, nga bagamba nti sheikh Kawuta yawaayo akawunti ye UNRA kwe yassa ssente ezaali eze ssomero. Ekilala bamulumiriza okugezaako okutunda ekitundu ku ttaka ly`omuzikiti omukulu mu kibuga Kumi naliguza musigansimbi Omusomali nga ayagala kussaawo ssundiro lya mafuta, era bamulumiriza okuyiwa olukiiko oluli mu mateeka ga UMSC lwaalina okukola nalwo nassaawo olukiiko olutakkirizibwa mu mateeka.

Kyokka ye sheikh Abdul Wahab Kawuta bweyatuukiriddwa yabasekeredde yagambye nti abo bali ku byaabwe, nga bonna tekuli alina buyinza bu mugoba, era alinze bamuwandiikire mu butongole nti bamugobye sso ssi kumugobera ku mumwa na mu mawulire, era yatiisizza okubatwaala mu kkooti ssinga kabatanda ne bamuwandiikira ekiwandiiko kyonna ekimugoba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });