Amawulire

Nandutu yesambazze eby’okufuna amabaati g’e Karamoja mu bukyamu.

Agnes Nandutu, omubaka omukyala owa distukiti y’e Buduuda era minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Asiimwe amusomedde omusango gw’okubeera n’ebintu bya gavumenti ng’abifunye mu makubo amakyamu.

Empaaba y’oludda oluwaabi egamba nti mu June 2022, ku ofiisi ya Katikkiro wa Uganda mu Kampala ne ku kyalo Kkola e Bulwanyi mu Mukono ,Nandutu yali n’amabaati 200 nga galiko laama ya ofiisi ya Katikkiro wa Uganda.

Kigambibwa nti Nandutu yafuna era yasangibwa n’amabaati ago ng’alina ensonga okumanya nti amabaati ago ga gavumenti era gaabuzibwawo. Omusango gumu ogumusomeddwa era agwegaanye n’ategeeza nti ebimuvunaanibwa talina ky’abimanyiiko.

Omuwaabi wa gavumenti, David Saminyu yagambye nti okunoonyereza kuwedde era n’asaba asindikibwe mu kkooti enkulu okuwulira omusango. Ono ye minisita ow’okusatu okukwatibwa ku nsonga za mabaati zino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });