Ebyobufuzi

Mpuuga asoomoozezza president Museveni

Akulira oludda oluwabula government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba asoomoozezza president Yoweri Kaguta Museveni okutwala mu mbuga z’amateeka abantu abaakuba bannansi amasasi abasoba mu 50 nebabatta mu November wa 2020 nti bavunaanibwe, bwaba nga ddala akkiririza mu ddembe ly’obuntu.

Abantu ba bulijjo abasoba mu 50 baakubwa amasasi nebattibwa n’abalala nebasigala n’ebiwundu, mu kwekalakaasa okwaddirira okukwatibwa kwa president wa NUP Robert Kyagulanyi bweyali agenze okunoonya akalulu k’obwa president mu bitundu bye Luuka.

Abantu mu Kampala ne Wakiso baatanula okwekalakaasa nekyaddirira masasi, abantu abasoba mu 50 battibwa, mu kwekalakaasa kwennaku ebbiri nga 18 ne 19 November,2020.

Mu ngeri yeemu Mpuuga agambye nti akakiiko akavunanyizibwa ku ddembe ly’obuntu nako kalemereddwa okulwanirira eddembe lya banna Uganda.

Bwabadde awa obubaka obukwata ku lunaku lw’okwefumiitiriza ku ddembe ly’obuntu olukuzibwa leero nga 10.December, Mpuuga agambye nti yewuunya okulaba nga ssentebe wa kakiiko k’eddembe ly’obuntu naye yegasse ku bakungu mu gavumenti abagamba nti abantu abali ku ludda oluwabula gavumenti bebatwala mu lukungaana lwe ddembe lyobuntu olwali mu Kenya nti baali bafuna bubenje bwa boda boda.

Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti ng’ebyo byonna bikyakolebwa, oludda oluvuganya government lwakugenda mu maaso nookwanika ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebikolebwa ebitongole ebikuuma ddembe.

Mathias Mpuuga Nsamba mu bubaka bwe eri bannansi ku lunnaku luno olwensi yonna olweddembe ly’obuntu ,agambye nti Uganda yassa emikono ku ndagaano zokutumbula nokukuuma eddembe ly’obuntu ku lukalu lwa Africa nomutendera gwensi yonna, nti wabula ekyewunyisa bino byakoma ku mpapula.

Mathias Mpuuga Nsamba agamba nti ebikolwa ebiriwo ebyokuwamba nokutulugunya bannansi byebyatwala Mwami Museveni mu nsiko okubirwanyisa ,wabula ekyennaku gavument ye teyiga byeyalwanyisa ate byekola.

Mathias Mpuuga Nsamba agamba nti nekisinga okukwasa ennaku, ebitongole okuli eky’amateeka n’essiga eddamuzi saako akakiiko k’eggwanga akeddembe lyobuntu ebyandirwaniridde nokutumbula eddembe lyabannansi ate nabyo biri mu buwambe bwabo abalinyirira eddembe ly’obuntu

Mpuuga agambye nti bakwongera okulwanirira eddembe lyabo abatulugunyizibwa, era ajjukiza abali emabega webikolwa bino nti ekiseera kijjakutuuka buli omu yenyonyoleko ku bikolwa bino, omuli naabo ababuzaawo abantu naddala abo abatawagira gavumenti, nga batwalibwa mu mmotoka ezabulijjo okuli drones n’endala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top