Ebyobufuzi

Nadduli atabukidde museveni kubya mayilo landi n’okutta abasilaamu

Nadduli atabukidde museveni kubya mayilo landi n'okutta abasilaamu

Eyaliko minista w’aguno naguli mu ofiisi ya pulezidenti era nga yaliko ssentebe wa NRM mu Buganda Al-Haji Abudu Nadduli atabukidde pulezidenti Museveni era n’amulabula  okukomya okukyankalanya buganda ng’ayagala okugyawo mayilo landi, ate n’,okukwata abasilamu abateberezebwa okutta n’okutega Bbomu mu gwanga ate oluvannyuma lwokukwatibwa ate e battibwa nga bakubwa amasasi.

Haji Nadduli era ajjukiza pulezident museveni okutukitiza ettu lye yasuubiza abalwana mu lutalo lwe Luweero n’abaana babwe, alumiriza abamu kubalwanyi okuba nga Bali mumbeera nnungi era basasulwa, kyokka ye n’ekitundu gye balwanira bakyali mumbeera mbi. Bino  n’embeera eri mugwanga Nadduli abitegezezza Omusasi wa SSEKANOLYA ku ssimu.

SSEKANOLYA: Ng’eyalwana mu lutalo olw’aleeta gavumenti eno, pulezidenti Museveni yatukiriza ettu lye yabasuubiza n’abaana bamwe ng’ayamvadde engule?

NADDULI: Abamu kubalwana bakyakolera gavumenti era  basasulibwa bulungi nga n’abaana babwe bali mubifo ebyesimisa mu bitongole bya gavumenti ebyenjawulo, kyokka waliwo abali mu lutalo abakyabanja gavumenti eno nga n’abaana babwe bali mumbeera mbi. Nze nkyalize kuba , eddiini ye kisilamu etukubiriza okubeera abaguminkiriza.

SSEKANOLYA:Ng’abasiraamu, muli bamativu n’ebifo Museveni bye ye bawadde mu kabineti empya?

NADDULI: omuganda agamba nti nnyama ntono…..twebaza obufo obutono obwo bwe tulina mu kabinenti ye era twongera okumusaba okutuyisa nga beayisa abamadiini abalala, obwo obufo butono nnyo gyetuli.

SSEKANOLYA: Pulezidenti Museveni bwe yali e kololo gye buvuddeko, yagamba nti ayagala mayilo landi eveewo, Okiriziganya naye?

NADDULI: Ekyo kya bugwi bwa ddalu mu Katonda, ettaka lye gwanga, era omuntu akwata ku gwanga aba asima ntaana yakuziikamu Buganda. Museveni atabula Buganda yali azaddeyo ku mwana n’amutuma amannnya g’ekiganda, Lwaki atandikira ku ttaka, yandisoose ku famile ye ng’amannya abatuuma ga baganda nga n’okufumbirwa bafuna basajja baganda era mubuganda, gye yagya obuyinza, naye bwaba nga takikoze ng’akyabayita Natasha, obwo buggya era atawanira bwerere ebintu biri mu biwandiiko, bw’alifa abaliddawo bali bizzawo, Obote bwe yagyawo obwakabaka, museveni bwe yajja teyabuzzawo, n’ekyo bwe kiri era bwe kigenda okubeera.

SSEKANOLYA: Naye ddala  kituufu nti Bagala kusangula Buganda ku mapu ya Uganda?

NADDULI:Museveni alina olutalo lw’ategeka okulwana ne Buganda,  ng’olwali mu Rwanda olw’amawanga era kirabika ne pulaani eno mwebagala okugikolera, naye ate ssisuubira nti olutalo olwo agenda kuluwangula, buli muntu alina omugabo gwe mu gwanga lino, ave kubantu n’ebintu bya Buganda.

SSEKANOLYA: Bubaka ki bwowa supreme mufuti omugya?

NADDULI: mwana wange nze ndi munnabyabufuzi, Olowooza Bubaka ki bwenyinza okumuwa, ye  lwaki oyagala onteeka muntalo, MWe abamawulire mbamamyi era Manyi kyoyagala nkugambe, musaba yewale entalo zobufuzi ate musaba okukwasaganya ate n’okugatta abasilaamu ababadde bawuddeamu ebibinja ebyenjawulo.

SSEKANOLYA: Oyogera ki ku ky’abasilikale okutta abo be batebereza okubeera nga bebatega bbomu mu kampala n’ebitundu by’egwanga ebyenjawulo?

NADDULI: Ekikolwa kyokutta abagambivwa okubeera abatujju Kya bukaafiiri nnyo era n’ekitabo ekitukuvu ekya kulaani tekikiriza muntu yenna kutta muntu munne. Tusaba ebitongole bya seculite okukikomya kuba kuba kibuza obujulizi bwe kitta abateberezebwa, abo bwalina okutuusa kubabatuma, bwobatta obujulizi bwonna obeera obusse era obeera togonjodde n’okukomya obutujju  mu gwanga. Tulabula gavumenti okukomya okulowooza nti abasilaamu be batta abantu era ne tunilsbils okukomya okutta abantu bonna ababeera bateberezebwa okuzza emisango egyenjawulo.

SSEKANOLYA: Oyogera ki ku kukwatibwa kw’ababaka Sseggirinya ne Ssewannyana?

NADDULI: Gavumenti erina okukola kyonna ekisoboka okulaba nv’ababaka abo baleetebwa mu kooti ate nebawozesebwa. Twawukidde nti gavumenti eganye okywa ba looya b’abawawabirwa ebyavudde mu kunonyereza, naye ekyo bakola kikyaamu, buli muntu alina okufuna obwenkanya mybuli mbeera.

SSEKANOLYA: Bubaka ki beolina eri banna Uganda?

NADDULI: mbasaba okujjumbira ennyo emisinde gya Ssabasajja Kabaka kuba meayita okuyamba abantu be ng’abakanjaba endwadde ezenjawulo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });