Amawulire

Nnaabagereka asabye abakulembeze ne bannakyewa mu Africa okwongera okuteekawo obwenkanya

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakulembeze naddala mu Afirika  n’abantu ssekinoomu okusitukiramu bayambeko okutumbula ekifaananyi n’embeera z’omwana omuwala  n’abantu abali mu bwetaavu okusobola okuteekawo obwenkanya.

Okusaba kuno Nnaabagereka Nagginda akukoledde mu kibuga Kigali ekye Rwanda mu lukung’aana lwa bannakibiina ki African Philanthropy Forum olwa 2022 nga luno lwagguddwawo Pulezidenti Paul Kagame ne mukyala we Jeannette Kagame.

“Obuvunaanyizibwa bunene bwetulina, tewali muntuy ssekinoomu oba kitongole ekisobola okukyuusa embeera eno mu Afirika, naye kino kisobokera ddala singa tukolera wamu okutumbula embeera z’omwana omuwala,” Nnaabagereka Nagginda bwe yagambye.

Nnaabagereka Nagginda ategeezezza nti olukung’aana luno luyambye okusobola okutegeera okusomoozebwa okuliwo okutumbula omwana omuwala, ebituukiddwako awamu n’engeri gyebasobola okutwala ensonga eno mu maaso abaana abawala basobole okufuna omugabo gwabwe mu nsi.

Ye Pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame n’omukyala Jeannette Kagame bategeezezza nti olugendo  luno lulabika nga oluwanvu naye singa bakola enteekateeka ennung’amu era nebafuna obuyambi okuva mu bakulembeze b’ebyobufuzi n’abantu ssekinoomu buli omu natuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, ebiruubirirwa bya African Philanthropy Forum  bisobola bulungi okutuukirira mu myaka 10.

Bano basiimye ssentebe w’ekibiina kino, Tsitsi Masiyiwa, olw’okwewaayo nakola kyonna okutangaaza ebiseera by’omwana omuwala eby’omu maaso naye asobole okweyagalira mu nsi.

Kinajjukirwa nti e Kigali olukung’aana luno lubadde lutuula mulundi gwa kutaano era guyindidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, ” Okuziba  omuwatwa mu kikula ky’ abantu.”

Ekibiina ki African Philanthropy Forum kyaggyibwa mu Global Philanthropy Forum eky’ensi  yonna nekigendererwa ky’ okuyamba bantu mu nsi yonna ne ku Ssemazinga Afirika era kyetongola mu 2014.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top