Amawulire

Omuvubuka asse nnamukadde n’akuliita n’endagaano ze poloti ne ttivvi.

Poliisi y’e Mukono eri ku muyiggo gw’omuvubuka agambibwa okuyingirira nnamukadde ow’emyaka 90 n’amutuga n’oluvannyuma n’akuliita ‘nendagaano za poloti,ttivvi n’ebirala.

Bino byabadde  ku kyalo Bugujju ekisangibwa mu kibuga  ky’e Mukono, omuvubuka  ono ategeerekese nga Ibra Tumushabe bw’agudde nnamukadde Victoria Muwanguzi Nakirwadde  mu malaka n’amutuga n’amutta emisana ttuku.

Okusinziira ku muzzukulu we, w’omugenzi Mathias Kyobe agamba nti Tumushabe yasooka kujja mu budde obw’ekiro ng’ayagala amusuze, omukadde kyegaana, n’ategeeza nga bwe balina okusooka okugenda ku kakiiko k’ekyalo yeeyanjule, omuvubuka ne yeerema n’agenda.

Kigambibwa nti Tumushabe eggulo yalabirizza abaana ssaako bazzukulu ba nnamukadde ono nga bagenze okukola bamufumbikiriza n’amutuga era nga Kyobe yagenze okudda ku ssaawa 04:00 ez’oku makya nga jjaajja we mufu.

Abatuuze bavumiridde ekikolwa kino era ne bateegeza ng’omuvubuka nga bw’abadde yaakava mu kkomera ku misango gy’obubbi.

Kansala w’abakuze mu myaka ku lukiiko lwa Mukono Municipality George William Magera agambye nti abavubuka obutaagala kukola y’ensibuko y’ebizibu.

Aduumira poliisi y’e Mukono, Edrisa Kyeyune agamba nti bali ku muyiggo gw’omutemu ono, era nga n’omulambo gwaweereddwa abaffamire oluvannyuma lw’okuggyibwa mu ggwanika e Mulago.

Omukadde ono waakuziikibwa olwaleero.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top