Amawulire

Omusumba agambibwa okutulugunya abaana akwatidwa.

Police e Kawempe mu Kampala n’emiriraano eggalidde omusumba Robert Ssenfuma,emulanze kutulugunya baana abawala n’ekigendererwa ekyokubafunamu ensimbi.

Waliwo omwana Omuwala Nassande Tendo emyaka 10, yeyekubidde enduulu eri police nga yeemulugunya ku musumba, gwágamba nti abadde abakozesa emirimu gy’Okutunda obutambi okuli ennyimba z’ekkanisa yómusumba, kyokka nga bwebalemwa okufuna omutemwa gw’ensimbi zábeera ayagala ng’abakuba kibooko.

Omwana Nassande ono olulonkomye omusumba Robert eri police , ekikwekweto kikoleddwa mu makaage era abaana abalala mukaaga abato nebazuulwa mu maka ge nga bali mu mbeera mbi.

Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire , ategeezezza nti bafunye obujulizi obuluma omusumba , nga kati waakuwerennemba n’emisango omuli okukukusa abaana n’emirala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });