Abantu basatu baafiiriddewo n’abalala ne balumizibwa bya nsusso omukambwe bwe yakutte emundu n’asindirira mu bayizi ba Michigan State University mu Amerika amasasi....
Poliisi ezinduukirizza akabinja k’abavubuka abagambibwa okutigomya ab’omu Kawempe ne babakwata. Abaakwatiddwa amakanda babadde baagasimba ku kafo akamanyiddwa nga ku Mitti Ebiri nga...
Mwana mulenzi Kiflex nga amannya ge amatuufu ye Kilian Afuso Fulie olwalabye omuyimbi Eddy Kenzo mu America ng’alabiseeko mu mpaka za Grammy...
Abantu abawerako balumiziddwa bwebabadde bataasa ebintu byabwe mu muliro ogukutte emmaali y’abasuubuzi mu Kakajjo Kiganda Zone mu Kisenyi mu Kampala. Omuliro gutandise...
Abavubi ku mwalo gwe Kacungwa ogusangibwa mu ggombolola ye Mazinga mu disitulikiti ye Kalangala balaajjana olw’ababbi b’ebyenyanjja abolekedde okubalemesa omulimu gwabwe. Bagamba...
Omuk. Albert Kasozi ayanjuddwa nga ssenkulu w’ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board omuggya. Minister w’eby’obuwangwa, obulambuzi n’embiri Owek. David Kyewalabye Male...
Abalunzi balabuddwa ku basawo b’ebisolo abafere Omukugu Grace Bwogi alabudde abalunzi ku basawo b’ebisolo abafere . Bino Grace Bwogi owa Bwogi farms...
Eyajja ng’akaaba n’awanjagira mukwano gwe okumusuza oluvannyuma lwa muganzi we okumugoba awaka, yamwefuulira n’amubba obukadde 4 mu dduuka gye yali asuziddwa n’addukira...
Ekkanisa ya Uganda erangiridde nti mu butongole yeyawudde era siyakugoberera nteekateeka zonna ez’ekkanisa ya Bungereza, oluvanyuma lwekkanisa eyo okulangirira nti ekkirizza okugatta...
Enkuba ebaddemu kibuyaga ow’amaanyi n’omuzira, egoyezza ebintu mu magombolola abiri mu district ye Kayunga, abaayo n’ebaleka nga bajaasimula bugolo. Ebyalo ebikoseddwa bisangibwa...