Amawulire

Pulezidenti Museveni alwadde Covid n’agenda mu kweyawula.

Pulezidenti Yoweri Museveni alangiridde nti agenze mu kweyawula (Isolation) oluvannyuma lw’abasawo okumuzuulamu ekirwadde kya Covid 19 ku Lwokubiri lwa wiiki eno.

Museveni ayise mu kiwandiiko ky’atadde ku mukutu gwe ogwa Twitter n’ategeeza nti nga bwe yannyonnyodde eggwanga nti yabadde azuuliddwaamu ekirwadde kya Covid19, asazeewo yeeyawule okuva mu bantu nga n’emirimu  gye gyonna gy’abadde alina okukola olwaleero (Lwakuna) n’enkya ku lunaku lw’Abazira ba Uganda  tajja kusobola kugikola.

”N’olw’ensonga eyo, nneeyawudde wano e Nakasero obuvunaanyizibwa bw’omukolo gw’enkya (ogw’emikolo gy’Abazira ogunaaba e Luwero) ngukwasizza Katikkiro wa Uganda Robinah Nabanja agukulembere.

Museveni ategeezezza nti okuva Covid lwe yajja abaddenga musaale mu kwambala masiki kyokka waliwo we yatuuka n’aziwummuzaamu kubanga zaali zimuleeta ekifu ku maaso n’okukosebwa mu mimiro. N’agamba nti akakiddwa okuddamu okuwummula omulundi ogunaaba ogwokubiri mu myaka 53 gy’amaze bukya atandika kulwanyisa Amin mu 1971.

Kyokka n’agamba nti obubonero tebutiisa nnyo, kyokka abadde alina okugoberera ebiragiro by’abasawo n’okwewala okusiiga abalala.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top