Amawulire

Pulezidenti Museveni asasulidde Chameleone ez’eddwaaliro.

Pulezidenti Museveni asasulidde omuyimbi Jose Cha­melone ssente z’eddwaaliro mu America, abasawo gye baamulon­gooserezza.

Eby’okusasulira Chameleone ssente z’eddwaaliro, byakakasid­dwa Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja eyagambye nti Pulezidenti yasasudde ssente zonna ezaabadde zeetaagisa.

Chameleone baamusaba doola za America 100,000 (369, 693,100/-) okumulongoosa n’okumujjanjaba mu America gy’ali kati ku kitanda.

Kigambibwa nti Chameleone amaze emyaka ebiri ng’atawaanyizibwa akalulwe akaamuviirako amazzi okuyiika mu lubuto.

Museveni okusasula ensimbi zino, kyaddiridde Chameleone okuweebwa ekitanda mu America ng’ali mu mbeera mbi era abasa­wo abakugu ne bamuwa amagezi alongoosebwe.

Kyokka yabadde talina ssente zeetaagisa ekyawalirizza aboolu­ganda n’emikwano okutuukirira Nabbanja ne bamusaba abatuu­size okusaba kwabwe eri Pulezidenti Museveni.

Abasawo ab’enjawulo baawa Chameleone amagezi okufuna abakugu mu America abayinza okumulongoosa, kyokka nga talina ssente zimusabibwa.

Chameleone ng’amannya ge amatuufu ye Joseph Mayanja, azze alwala emirundi egiwerako n’aweebwa n’ekitanda, nga yas­emba okulwala mu August 2021.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });