Amawulire

Putin yeesozze eddwaaniro mu Ukraine

PUTIN yesozze eddwaaniro mu Ukraine bw’akubye amawanga g’alwana nago eddolera ne gamwekangira mu ggwanga eryo ng’azzaamu abalwanyi be amaanyi
bawage balumbe buto gye batannawamba.

Vladimir Putin Pulezidenti owa Russia, yalinnye ennyonyi okuva e Moscow okutuuka ku kizinga kya Crimea, ze mayiro 1,132 nga tawummudde .

Amawulire ga Dail Mail ag’e Bungereza gagattako nti olwavudde mu nnyonyi, yalinnye Land Cruiser eyamwetoolozza ekibuga Sevastopol awali ekitebe ky’amagye ga Russia agalwanira ku liyanja lya Black Sea awali n’ennyonyi Su- 27 wiiki ewedde
ezaakubye ennyonyi ya Amerika eyabadde eketta ekizinga kino.

Ku kizinga kino ekyawambibwa Russia ku Ukraine mu 2014, Putin yalambuziddwa meeya gwe yateekayo ayitibwa Mikhail Razvozhaev kyokka nga buli yabaddewo okuva ku Pulezidenti kennyini, abajaasi abaabadde abangi, Meeya na
buli muntu beekapise emijoozi oba ebikooti ebitayitamu masasi.

Wadde okwambala ebyo kyabadde kisuubirwa, kyasusse ku kya bulijjo olw’embeera eyabaddewo wiiki eyo nga Amerika eyongedde okuketta ebigenda mu maaso ku kizinga ekyo nga bali ng’abaabadde bakitegeddeko nti Putin anaakyalayo.

Amagye ga Ukraine nago gamaze ebbanga nga gakuba ebikompola ne mizayiro mu kibuga ekyo ekyewuunyisizza abangi ku bugumu Putin bwe yakozesezza okugendayo.

Kyewuunyisizza abazungu ne Amerika okulaba nga n’ekkooti y’ensi yonna mu kibuga Hague mu Budaaki, yabadde yaakalangirira bw’emutaddeko ekibaluwa kibakuntumye
olw’ebigambibwa nti amagye g’aduumira gatulugunya abaana abawambibwa mu lutalo ne babakaka okutwalibwa mu Russia okubagya mu Ukraine.

Ekibaluwa kitegeeza nti w’alabibwako wonna naddala mu nsi etali yiye, akwatibwe atwalibwe yeewozaako era nga kitegeeza nti yandibadde atya okuva mu nsi ye kyokka mu kusoomooza n’atambula okugenda mu nsi (Ukraine) ate erimu olutalo olulimu amawanga g’Abazungu abatalima kambugu na Russia eyalutandikawo.

Okukyala okwo era Putin yakugendereddemu okulaga bwe giweze emyaka mwenda bukya Russia ewamba kizinga ekyo n’erangirira bwe kifuuse kitundu kya Russia
wadde Ukraine ekyakiyita kyayo n’ekibiina ky’amawanga amagatte kikkiriza nti Crimea eri mu Ukraine.

Okukyala kwa Putin okwabaddewo ku Lwomukaaga, kwabadde kwa kyama okufaananako ebyaliwo jjuuzi nga Pulezidenti wa Amerika, Joe Biden akyala mu Kiev ekya Ukraine, n’obugenyi bwa Putin bangi baabutegedde avuddeyo olw’okusooka okulayiza be yagenze nabo obutafulumya kyama okutuusa ng’amaze kudda Moscow gye yavudde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });