Amawulire

Munnayuganda e South Africa afumise mukazi we mu bukambwe n’amutta.

Munnayuganda omusuubuzi e South Africa kigamibwa nti  obusungu bumulinnye n’akakkana ku mukazi we n’amufumita ebiso ebimuviiriddeko okufa.

Poliisi y’e Pretoria ekutte Charles Lutaaya ng’emuteebereza okufumita mukazi we Hariss Nassanga n’amutta.

Poliisi ye Pretoria esanze ensiitaano ey’amannyi mu maka g’ababiri bano mu kibuga Pretoria ekiraga nti waasoose kubaawo okulwanagana okw’amaanyi wakati waabwe bombi.

Omulangira Jjuuko, omu ku Bannayuganda abawangaalira mu kibuga kino ategeezeza nti Lutaaya yasitudde olutalo ne mukyala we mu matumbibudde n’afumita Nassanga ebiso ebimusse.

Agambye nti omwana waabwe ow’emyaka 14 Naye alumiziddwa wakati mu ku lwanagana kuno.

Poliisi eggyeewo omulambo gwa Nassanga n’egutwala mu ddwaaliro e Pretoria. Bukedde abadde tannamannya kituufu Nassanga gy’azaalwa wano e Uganda.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });