Ebyobufuzi

Nobert Mao banna Makindye bamutabukidde ku by’okukuumibwa SFC n’okwetaba ku bubaga bwa NRM

Abamu ku bannakibiina ki  Democratic Party (DP) okuva mu divizoni ye Makindye batadde Ssenkaggale w’ekibiina, Nobert Mao alekulire ekifo kye kubanga asusse okwekulubeeseza ku NRM.

Okusaba bano bakuweeredde mu lukungaana lwa bannamawulire lwebatuuzizza ku woofiisi z’ekibiina ezisangibwa e Makindye nebategeeza nti mukama wabwe obudde bwe obusinga abuwa bannakibiina kya NRM okusinga aba DP.

“Kisoboka kitya omukulembeze w’oludda oluvuganya okukuumibwa eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga. Mbadde sikirabangako. Tetuli basanyufu ne Mao twagala akomye okulumba abakulira ebibiina ebirala kuba tekirina gyekitutwala okuggyako nga asindikibwa gavumenti era nga asuubirwa okusasulwa,” Abamu ku bano bwe bategeezezza.

Bano bannyonnyodde nti ensangi zino Mao taggwa mikolo gya kibiina kya NRM kyokka ku gy’ekibiina kya DP kyakulembera alwawo okugyetabako era baagala okumanya oba akyali Ssenkaggale wa DP oba yafuuka wa NRM.

Okusinziira ku bano, Mao yakikola kagenderere okuggya omuntu wabwe mu kalulu ka Omoro nga banoonya anaddira eyali Sipiika Jacob Oulanyah mu bigere, bannyonnyodde nti yasalawo akulembeze omukwano gweyalina ne famire ya Oulanyah okusinga okukolerera ekibiina.

Bannakibiina era beebuuza lwaki mu mikwano gya Oulanyah kati omugenzi ng’egisinga giri mu NRM,  Mao yeyalondebwa okutwalibwa ebweru okumulaba.

Banna Makindye bano bagamba okutuuka ku Mao olwana kuba akumwa butiribiri era ab’eggye lya SFC tebakkiriza kumala gamusemberera.

Bwabuuziddwa ku nsonga zino, Mao ategeezezza nti tezirimu nsa era bano bweba bakulembeze bakibiina nga bwebagamba bamanyi engeri ensonga zino bwezirina okugonjoolwa so si mawulire nga bwebakoze.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });