Amawulire

UNICEF ne WFP basazeewo okukolera awamu

Ekitongole kya mawanga amagatte ekivunanyizibwa ku baana ki UNICEF nekivunanyizibwa ku mmere ekya World Food Program bisazeewo okuzimba office zabyo mu kifo kimu, okukendeeza ku nsimbi ezisasulwa mu bupangisa.

Ebitongole bino byombi bitongozza enteekateeka y’okutandika okuzimba office zino ku ttaka lya UNICEF erisangibwa e Mbuya.

Ettaka lino liwerako yiika 2.6, era ng’omulimu gusuubirwa okumala ebbanga lya myezi 18.

Omulimu bwegunaaba guwedde, ebitongole bino bisuubira okwongera ensimbi mu nteekateeka y’okudduukirira abaana n’abakyala abatesobola, n’okukuuma obutonde bw’ensi.

Akulira ekitongole kya UNICEF mu Uganda Dr. Munir Safieldin agambye nti ebitongole byombi ensimbi zopungangisa ezeyongera okulinnya buli olukya zibiyinze, kwekusalawo okuzimba amaka gabyo ku ttaka lye baafuna mu mwaka gwa 1964 e Mbuya.

Akulira World Food Program mu Uganda Abdirahman Meygag ye agambye nti balina esuubi nti ensimbi ezibadde zikozesebwa mu bupangisa singa ekizimbe kinaaba kiwedde, zakukozesebwa okuddukirira abantu abali mu bwetaavu.

Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka asabye abantu abazimba ebizimbe okugoberera emitendera egitaasa obutonde bwensi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top