Ebyobufuzi

Bannabyabufuzi basabye gavumenti eyimbule Kabuleta

Bannabyabufuzi abaawerezaako mu gavumenti ya pulezidenti Museveni batadde gavumenti ku nninga eyimbule akulira ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kabuleta kuba talina musango era n’etteeka ly’okusiga obukyaayi mu mawanga liveewo kuba teririna makulu.

Bano nga bakulembeddwamu Miria Matembe ne Wasswa Lule bategeezezza bannamawulire mu Kampala  nti etteeka lino gavumenti erikozesa kwenywereza mu buyinza awamu n’okutulugunya abantu.

Kabuleta nga yakulira ekibiina ki NEED ali ku alimanda e Luzira olw’okufulumya obubaka obusosola mu mawanga bweyategeezza nti emirimu n’enkulaakulana eri mu kitundu kye Ankole yeesigamiziddwa ku kusosola mawanga.

Matembe ategeezezza nti gavumenti Kabuleta evunaanaa wa bwerere kuba kyeyakola kwali kwogera kwebyo ebiriwo bwatyo nasaba bannayuganda okumwegattako balabe ng’ono ayimbulwa.

Ono agamba nti nga tebanavunaana Kabuleta basooke bebuuze ani asinze okusosola mu mawanga mu ggwanga nga kino kyeraga lwatu mu okuviira ddala mu bifo ebikulu eby’eggwanga okutuuka ku bakozi wansi kuba bonna bava mu ggwanga n’ekitundu kimu.

Kati bannabyabufuzi bagamba nti kano kafuuse katego, gavumenti keekozesa okukwatiramu abantu abagiwakanya n’okugigambako ku busosoze obugenda mu maaso.

Eyaliko minisita, Miria Matembe agamba nti gavumenti yennyini yeerina okuvunaanwa kuba ebikolwa by’ekola n’engeri gyegabamu emirimu n’ebifo esosolera ddala mu mawanga.

Ye  munnamateeka era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu, Geoger Musisi ategeezezza nti kyewunyisa okulaba nti wadde gavumenti ezze ekwata abantu olw’okwawulayawula mu mawanga ng’eyita mu tteeka lino naye tewali muntu yenna gwegwali gusinze.

Bano era bavumiridde engeri y’okumala gawamba abantu nebalabula abali mu buyinza nti beewale okuzzaayo eggwanga mu biseera  bya Amin ne Obote.

Bino webijjidde nga Kabuleta asuubirwa okuleetebwa mu kkooti ku Lwokusatu asomerwe omusango gwe wamu n’okulaba oba asobola okweyimirirwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });