Amawulire

Agambibwa okubba TV amaze nakwatibwa.

 

Omuvubuka gwe bateeberezza okuba omubbi akiguddeko, omukazi atasiba zikweya bw’amukutte namukunguzza okumutwala  ku poliisi ng’amulumiriza okumubbira TV ne ssente.

Bino bibadde kabuga k’e Lukaya e Kalungu Stellah Namuyanja omusuubuzi mu Kapere Cell,bw’akutte John Musisi gw’alumirizza okumulabiriza ng’afulumye mu nnyumba nabbamu TV ne ssente emitwalo munaana n’abulawo nabyo.

Namuyanja alinnye Musisi akagere n’amugwikiriza mu Juma Cell ng’akunganya ebyumu ebikadde,n’atandika okumukunya amubuulire gy’akwese TV ye nga bw’amukutte jjeeke ekizeeko kwe kumukunguza amutwale ku poliisi.

Kyokka wakati mu kumutwala yegattiddwako abatuuze okubadde n’abavuzi ba boda boda abamu abatwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba Musisi empi n’ebikonde ebimwasizza emimwa nga bamulumiriza obubbi wadde nga ye abadde akanya kwewozaako nti ssi mubbi.

abula Namuyanja alabye abatuuze bongera kutaama ng’ayinza obutatuusa Musisi ku poliisi kwe kusalawo okukyama ewuwe ne yeggalira mu nnyumba n’omubbi nti ayongere okumukunya.

 

Wano poliisi ekulembeddwa akulira poliisi y’e Lukaya Vianney Birungi w’etuukidde n’etwala Musisi mu bukuumi wakati mu batuuze okugiwerekereza ebigambo ebisongovu.

 

Oluvannyuma OC Birungi ayise olukiiko lw’ebyokwerinda ng’ayambibwako Hajji Edrisa Kayemba owa LCI mu Master Cell,mwe batemedde empenda ku ngeri y’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka bwe  bagamba nti bukyase nnyo mu kitundu.

Wabula Namuyanja alabye abatuuze bongera kutaama ng’ayinza obutatuusa Musisi ku poliisi kwe kusalawo okukyama ewuwe ne yeggalira mu nnyumba n’omubbi nti ayongere okumukunya.

 

Wano poliisi ekulembeddwa akulira poliisi y’e Lukaya Vianney Birungi w’etuukidde n’etwala Musisi mu bukuumi wakati mu batuuze okugiwerekereza ebigambo ebisongovu.

 

Oluvannyuma OC Birungi ayise olukiiko lw’ebyokwerinda ng’ayambibwako Hajji Edrisa Kayemba owa LCI mu Master Cell,mwe batemedde empenda ku ngeri y’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka bwe  bagamba nti bukyase nnyo mu kitundu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });