Amawulire

Ekitongole Ky’entambula Ze’nnyonyi Mu Ggwanga Kifunye Olukusa

Ekitongole ekikola ku ntambula z’enyonyi mu ggwanga nga bakolaganira wamu n’ekisaawe ky’enyonyi eky’Entebe bongeddwa obuvunaanyizibwa bwokulondo

Ekitongole ekikola ku ntambula z’enyonyi mu ggwanga nga bakolaganira wamu n’ekisaawe ky’enyonyi eky’Entebe bongeddwa obuvunaanyizibwa bwokulondoola omutindo gw’enzirukanya y’eby’enyonyi ssaako empeereza zonna eziri ku bisaawe by’enyonyi mu ggwanga.

Okusinziira ku mukwanaaganya w’emirimu mu kitongole kino, Vianny Luggya, kino kituukiddwako oluvanyuma lwekitongole kino okutuukiriza ebisaanyizo ebyabasabibwa akakiiko kwa Bungereza akakola ku mutindo gw’entambula y’omubbanga aka United Kingdom Accreditation Service (UKAS).

Luggya agamba nti, ekitongole ky’ebyenyonyi kino kijjanga kwekenneenyezebwa buli mwaka okusobola okukuuma omutindo n’okulaba nga waliwo enkulakulana mu mpeereza eri abakozesa entambula eno.

Ekitongole kya UCAA okutuuka ku kino kiddiridde okwekeneenya okwakolebwa QMS wakati w’omwezi gwa Apuli nga 10 ne Maayi 21 2021 era nga muno ebisaawe ebirala 11 omuli; Arua, Ggulu, Kidepo, Jinja, Kasese, Kisoro, Pakuba, Soroti, Mbarara, Tororo n’ekya Moroto nga bimaze okutuukiriza omutindo ogwetaagisa.

Uganda yasooka okufuna olukusa lwokuddukanya eby’entambula z’enyonyi okuva ku ISO 9001:2015 mu December wa 2018 bweyatuukiriza ebisaanyizo nga eyita mu kitongole  ekikola ku by’entambula z’enyonyi wamu nekisaawe ky’enyonyi ekya  Entebe International Airport mu 2016.

Mu kino UCAA ne Entebe International Airport bebalina obuyinza okukkirioza oba okugaana byonna ebikwatagana nentambula z’enyonyi omuli; Okuwa olukusa, okulondoola, nabyonna ebigwa mu kiti kino.

Luggya ayongera nanogaanya nti, ekitongole kino kirina byonna ebyetaagisa era nga empeereza yakyo yakumatiza bonna abetaaga empereza yaabwe mu ngeri yonna eyetaagisa.

Agasseeko nti UCAA yakussa essira ku kutangira obutyabaga, n’okukozesa emikisa egigiriwo okulaba nga mpaawo akukkuluma mu mpeereza yaabwe. Agamba nti kino kyakumatiza abakozesa empeereza yaabwe ku mutindo gw’ensi yonna.

Omutindo, obwerinde, nebyokwerinda kwebagenda okusimba omulaka mu mpeereza yabwe era nga kwebagenda okuzimbira mu bbanga lyebanaamala  nga bali mu buweereza buno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top