Tekinologiya

Ssenkulu wa MTN Uganda addamu ebimu ku bibuuzo ebikwatagana ku migabo

Ssenkulu wa MTN Uganda addamu ebimu ku bibuuzo ebikwatagana ku migabo

MTN Uganda yawa bannayuganda n’amakampuni omukisa gw’okugula emigabo okuva nga 11 Ogwekkumi okutuuka nga 22 Ogwekkumi n’ogumu 2021 essaawa kkumi. Wuuno Ssenkulu wa MTN Wim Vanhelleputte atangaaza ku mukisa guno, nga addamu ebimu ku bibuuzo bya Ssekanolya.

Okusookera ddala, oyinza kunnyonnyola otya MTN Uganda nga Kkampuni?

MTN Uganda kitundu ku kkampuni gaggadde eya MTN Group, eyakakasibwa UCC nga kati essukulumye mu kugonjoola obuzibu bwa digito mu kutumbula Africa, ng’eyita mu bakasitoma baayo obukadde 277 abali mu mawanga amakumi 20 mu Africa ne mu massekati g’obuvanjuba.

Gyebuvuddeko MTN yalangirira okuggulawo omukisa gwayo mu kugula emigabo. Osobola okutunnyonnyolako kwekyo?

Ku migabo gino amakumi 20 ku kikumi ku magoba MTN gye yawa bannayuganda,  obuwumbi 4.5, nga omugabo gwa silingi 200 byokka era nga emigabo egisingayo okuba emitono okugulwa, giri 500. N’olwekyo ssente entono omuntu zaalina okukozesa okwenyigira mu kugula emigabo ziri 100,000/- era nga tukkiriza nti ssente zino zisikiriza abantu bangi okwenyigira mu mukisa guno.

Kiki ddala MTN kyewadde abantu?

Mu bimu ku byetugaba mwemuli empeereza za neetwaaka, digito ne tekinologiya mu by’ensimbi, okutunda ebyuma ebikozesebwa mu mpuliziganga n’okutambuza ensimbi (Mobile Money).  Mobile Money yo 100 ku 100 ya MTN Uganda era esaasaaniidde mu disitulikiti 134 nga empeereza eno eyita mu neetwaaka y’abatuyunga ku bantu (Agents) 119,077. MTN erina ba Kkasitoma abawera obukadde 15, abakozesa enkola ya MoMo bali obukadde 8.6 ate abakozesa Data bali obukadde 4.7.

Engeri ki gye nyinza okuyitamu okufuna omusisa guno?

Osobola okuyita ku mukutu gwa m-IPO portal ku myMTN app oba USSD. Osobola okuyita ku mutimbagano ng’okozesa “Easy Portal”. Oba ekibanja https://scd.use.or.ug/.  So nga ne mu katabo ag’enjawulo (Prospectus) weekali akongera okulambulura kino.

Nyinza ntya okugula omugabo mu MTN?

MTN nga bali wamu ne Uganda Securities Exchange abakola ku migabo, bataddewo omukutu oguyinza okukusobozesa okugula emigabo nga oyita ku Mobile Money ng’oli na waka.

 

Olina kunyiga *165*65#, n’olondako ekisooka, teekamu NIN nambayo, londako kiyunzi gwoyagala bwomala olonde ekisooka osobole okukkiriza enkola n’obukwakkulizo, yingizaamu pini nambayo eya Mobile Money olinde obubaka obukakasa, oluvannyuma lw’okutereeza akawuti, damu ebikusabibwa osobole okusasulira emigabo gyo.

 

Nsobola okugula emigabo nga ssiri kkasitoma wa MTN?

Ye, osobola. Abatali ba kkasitoma bakozesa Easy Portal Web, ne bakola akawunti olwo nebagula emigabo. Kino kisobola okukolebwa gwe wekka oba okuyambibwako abavunaanyizibwa oba okugenda ku saaviisi senta zaffe oba ku matabi ga stanbic bank wonna, okuyambibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top