Amawulire

Poliisi erabudde Dr Kizza Besigye ne Robert Kyagulanyi.

Poliisi  ewadde Dr Kizza Besigye, Robert Kyagulanyi Ssentamu awamu nabakulembeze abalala  amagezi okukomya okukuma mu bantu omuliro.

Abakulu mu poliisi bagamba nti entegeka za bano tezigenda kukola  kuba bannayuganda tebaagala muntu yenna ayagala kutabangula mirembe gyabwe kyokka ate nekirala okwekalakaasa kwebagala okutegeka kumenya mateeka.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga  yategeezezza nti buli lukya bafuna amawulire nga bannabyabufuzi bano bwebatandise okukunga abantu basobole okwekalakaasa omwezi guno wabula nabasekerera nga agamba nti bannayuganda bantu ba ddembe.

“N’omulundi guno, entegeka zabwe tezigenda kukola kuba tebalina kyebagamba bantu wadde okubawa amagezi ku mbeera eriwo wabula bawoza kimu musigale ewaka. Bakozesa embeera y’ebyenfuna eri mu nsi yonna okuteeka okutya mu bantu awamu n’okubazanyisa eby’obufuzi,” Enanga bweyalambuludde.

Poliisi esabye bannayuganda okwesonyiwa bano basigale mu mirembe era bwewabaawa abatiisatiisa bamuwaabire mu bakulu ab’obuyinza.

Enanga akakasizza nti nga poliisi beetegefu okwanganga embeera yonna era nalabula abo abatambuza n’okusaasaanya obubaka bwa bannamawulire bano nti bajja kuvunaanibwa.

Kinajjukirwa nti mu mwezi oguwedde abantu abawera 162 bakwatibwa mu kwekalakaasa kwa KUNGA okwaliwo  wakati wa  July 25-27, era ku bano 105 basimbibwa mu kkooti nebavunaanibwa nga kati bali ku alimanda.

 

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top