Akakiiko akateekebwawo okulondoola entambula y’emirimu mu masaza ga Buganda kamaliriza emirimu gyaako era alipoota yaako ey’omwaka 2022 era eno yegenda okusinzirwako okusala empaka z’essaza erisinze okukola obulungi.
Bano alipoota eno bagyanjulidde minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, Owek Joseph Kawuki ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo.
Enteekateeka eno eruubirira okusitula omutindo gwa Buganda ng’eyita mu makubo omuli, okutunuulira entambuza y’emirimu mu ggombolola ne mu masaza; ennambika y’okubukulembeze; obuyiiya, enkozesa ya tekinologiiya; ebiyiiyiziddwa ne polojekiti ezi kulaakulanya abantu, enkwanaganya y’Obwakabaka n’ebitongole ebirala, ate n’enkolagana ne Gavumenti ya wakati.
Okusala empaka omwaka guno kwatambulidde ku miramwa 8:
1). Ebikwata ku kkakkalabizo ly’essaza
2). Ebiva mu kusala empaka z’eggombolola.
3). Entambuza y’Obukulembeze n’emirimu.
4). Obwerufu.
5). Ebyenfuna by’Essaza
6). Bulungibwansi.
7). Obuyiiya ne Tekinologiya.
8). Obuwulize n’obujjumbize.
Okusinziira ku Ssentebe w’akakiiko, Mw. Godfrey Male Busuulwa, waliwo okugenda mu maaso mu ntambuza y’emirimu era abaami bafubye nnyo okunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu, ate nabo ne balaga obujjumbize ne bagoberera.
Ye minisita Oweek. Kawuki bw’abadde akwasibwa alipoota eno yeebezizza akakiiko olw’okukola omulimu mu budde.
Ategeezezza nti abantu abamu balina omuze ogw’okwekwasa obusongasonga ne balemererwa okukola emirimu, naye olupimo luno luzuukusizza bangi ne bongeramu amaanyi mu buweereza bwabwe.
Atenderezza nnyo Omutanda eyasiima n’assaawo obukiiko obusobola okutambula mu masaza okulondoola entambuza y’emirimu, nga ekyongede okunnyikiza obubaka bwe eri abantu be.