Abaali baddukanya kkampuni ekuuma n’okwokya emirambo baggaliddwa lwa kutunda bisigalira by’abafu!
Kkooti mu Colorado ekya America ekalize omwana ne nnyina mu nkomyo bebakeyo emyaka 20 ne 15 balangibwa kutundanga bitundu by’emibiri, byebaasokoolanga mu mirambo egyaterekebwanga mu kampuni gyebaali baddukanya (Funeral home).
Omukyala Megan Hess atemera mu myaka 46 ne nnyina Shirly Koch etemera mu myaka 69 baggulwako emisango era bennyini nebagikkiriza.
Obujulizi bulaga nti wakati wa 2010 ne 2018 ababiri bano baasokonkola emirambo 560 nebagiggyamu ebimu ku bitundu byagyo nebabikuba ebbeeyi, nga tebafunye lukusa kuva mu bannannyini gyo!
Hess akaligiddwa emyaka 20 ate nnyina 15 gyebanaamala mu kabulamuliro.
Obujulizi obuleeteddwa mu kkooti bulumye ababiri bano nti beekobaananga nebabaaga emirambo nebaggyamu ebitundu eby’ettunzi, oluusi n’emirambo emiramba nga bagitunda olwo bannanyini gyo nebabawaamu egitali gyabwe, ate nga n’egimu gyayokebwanga ekitaalinga kyangu kutegeera nti ddala ebitundu byonna byalinga byokeddwa.
Kitegeerekese nti Hess owa Sunset Mesa Funeral Home mu kibuga Montrose abadde asaba ensimbi ddoola 1,000 ku bafiiriddwa okukuuma n’okwokya buli mulambo, kyokka mbu olumu abafiiriddwa asalawo okubakuumira omulambo gwabwe ku bwereere olwo ye aggyemu ebitundu byayagala ebyefuniremu ensimbi.
Kkooti yakitegedde nti abakyala bano baasinganga kubuguyaza abo abajjanga nga bali mu nnaku etagambika, olwo nebeefuula abalumiddwa awamu nabo, songa baalina ekkerejje lyebasala okubatwalako omulambo gwabwe.
Omu ku baakutuusibwako ekikolobero kino ategeezezza kkooti, nti abakyala bano abaalabika nga abazira kisa babamalamu nnyo obwesige, kubanga baali babenyumirizaamu kumbe babbi ba bbaluwa.
“Megan oyo bweyabba omutima gwa maama wange, n’ogwange n’agukutula, era leero tuzze tumulabeko nga naye atyemulirwa ekibonerezo kye’’
Omulamuzi agubadde mu mitambo Christine Aguello agambye nti ebbanga ly’amaze mu bulamuzi, guno gwe musango ogw’ebyewuunyo gwasookeddeko okuwulira era bwatyo n’alagira bano baggalirwe awatali kulonzalonza.#