Makanika eyafudde ekibwatukila ekintu bwe kyamukutte mu kifuba alese aba famire n’emikwano mu kiyongobero.Alaan Ggita 32, abadde makanika w’emmotoka e Wndegeya ng’abadde abeera ne mwannyina e Mulago ku mawanda road mu minisipaali y’e Kawempe abaamulabyeko ku Lwokutano bagamba nti teyabadde na buzibu bwonna ng’ekiro yasoose kulaba mupiira gwa Man City ne Arsenal.
Ana Nlunga muganda w’omugenzi yagambye nti babadde babeera n’omugenzi nga mu kiseera we yafunidde obuzibu teyabaddewo nga Ggita yamukubidde essimu mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga ku ssawa 4:00 n’amutegeezza nti ekintu kimusimbye mu kifuba. Agamba yawalirizidwa okukubira baliraanwa be bamudduukirire era bagenze okutuuka ng’asobodde okuggula oluggi.
Baafunye emmooka ne bamuddusa mu ddwaliro e Mulago ebyembi n’afiira mu kkubo .Yaziikidwa Namulonge ng’alese omwana omu omuwala.