Attidwa ye Duncan Lubanga ng’ono yabadde anaatera okutuuka mu makaage abazigu ne bamukuba ejinja ku mutwe ne begenda ne ssente.
Abantu basabye ebyokwerinda byongezebwemu amaanyi kubanga ekittabantu kisusse nga mu kitundu.
Poliisi yaleese embwa yaayo enkonzi y’olusu okuzuula abasse omusuubuzi naye teriiko gwe yakutte.
Omulambo gwateekeddwa ku mmotoka ya Poliisi ne gutwalibwa mu ggwanika ly’edwaaliro ly’e Mulago.