Abalunzi balabuddwa ku basawo b’ebisolo abafere
Omukugu Grace Bwogi alabudde abalunzi ku basawo b’ebisolo abafere .
Bino Grace Bwogi owa Bwogi farms abyogeredde mu musomo mu mwoleso gwa harvest money e Kololo.
Grace agamba omusawo yenna omutendeke aba alina okunnyonnyola ki kyajjanjaba na bujjanjabi ki bwakozesezza okujjanjaba era naakuwandiikira byakoze nga bwekiba ku bantu era atakikola aba muyaaye.
Agamba n’omuntu bwalwala , omusawo amujjanjaba amunnyonnyola ki kyazuudde ekimuluma na bujjanjabi ki bweyeetaaga era n’awandiika nga n’amalwaliro agamu gasaba ebbaluwa z’abasawo abaasooka okujjanjaba n’obujjanjabi bwe baakozesa na bwekityo bwekiri mu bisolo .
Agamba omugaso gwekyo kwekuyambako omulunzi okumanya okuwa embuzize obujjanjabi obusookerwako ku bulwadde obutali bw’amanyi nga yeesigama ku magezi gaaba yafuna ku musawo w’ebisolo