Amawulire

Ensimbi ezaaweebwayo okuzimba akatale k’e Maddu – Gomba zitabudde abasuubuzi n’abakulembeze .

Abasuuzi   abassuka mu 300 ba babade bakolera ku   mabali ge  g’oluddo  e Maddu  mu disitulikiti ye Ggomba nga bano babade mu nteekateeka kwekwata emidaala gy’akatele town council k’egenda okuzimba  kibawedeko bwe batuuse ku kifo  we bagenda okukola nga kifunda okusinzira ku muwendo gwabwe.

Bano basoose mu lukiiko olwetabiddwaamu Mmeeya w’e Maddu, Nnalongo Jane Kalumba n’abamu ku bakansala b’ekitundu   nga  wano abasuubuzi  balaze okwemulugunya eri abakulembeze ababatwala  nga bagamba nti emidaala 60  nga tegiyinza kumala.

Entabwe evudde ku ssente obukadde 800 ezigambibwa  nti  zaaweebwa  ekibiina kya Islamic Fund ne  Local Gaverment (LEG) okukulaakulanya ekitundu nga  bazimbira abasuubuzi akatale  abakulembeze   babagamba nti balinawo  obukadde 500.

Kino kiggye abasubuuzi mu mbeera ne batandika okwerangira ebisongovu olw’obotabeera beerufu .

Mmeeya Jane Kalumba yennyamidde n’ategeeza nti abasuubuzi balina eddembe okumanya ekigenda mu maaso  naddala mu by’enkulaakulana kuba pulojekiti y’akatale ebakwatako.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top