Minisita w’ensonga z’e Karamoja Mary Goretti Kitutu ayatudde obulokozi nakkiriza nti ddala yagabira ba minisita amabaati agaali galina okugenda e Karamoja.
Kitutu akomyewo mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensonga z’obwa pulezidenti akakubirizibwa Omubaka Jesca Ababiku akali akunonyereza ku buwumbi 39 ezaali zirina okununula abantu b’e Karamoja nga kuno kwaliko okugula amabaati kwosa n’embuzi.
Ku lw’okusatu Kitutu teyasobola kwanukula bibuuzo byali bimusoyeddwa lwa nsonga obudde bwali bugenze era akakiiko ne kamulagira okudda olwa leero ng’afunye eby’okuddamu.
Ekyewunyisiza ababaka, Kitutu aze n’akapapula kamu akwetonda kwe kyokka nga tataddeko mmanya ge namukono gwe.
Agambye nti ddala kituufu amabaati agamu yagagabira ebitundu ebirala ebitalina kufuna n’asaba asonyiyibwe.
Wabula ababaka ku kakiiko nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, bamubuuziza baani abo beyawa amabaati, ani yaleeta ebiragiro by’okugaba amabaati mu bitundu ebirala, amabaati Ameka geyagaba, ne nsonga lwaki yagagaba kubanga abagambibwa okuba yayagabira bbo bategezeezza akakiiko nti tebagasabaako.
Kitutu ebibuuzo bimuyinze n’asaba okumuwa akadde okudda n’ekiwandiiko ekimala okwannukula ebibuuzo Bino wabula ababaka ne bakalambira ababuulire amannya g’abantu beyawa era ekiridde kumuteeka ku birayiro.
Asoose kugaana kulayira n’agamba nti gayogera ge mazima wabula ababaka ne bakomba kwerima yetonde.
Kitutu era yewozezzaako nti abakungu mu minisitule ye tebaamulungamya ku nsonga eno.