Abakyala mu ggwanga bakubiriziddwa okufuba okulaba nga beenyigira mu mirimu egiyingiza ssente mu maka kino kibayambe okukulaakulana ne babbaabwe mu bwangu.
Bino byogeddwa Hadijah Zawedde, kkansala wa Bukoto B mu munisipaali y’e Nakawa bw’abadde asisinkanye abakyala b’Ekkanisa ya Life in Christ Miracle Church esangibwa e Bukoto ku mukolo gwe bakulizaako olunaku lw’abakyala mu kkanisa yaabwe.
Zawedde agambye nti newankubadde omwami gwe mutwe gw’amaka, abakyala tebalina kubalekerera naddala mu kaweefube w’okunoonya ensimbi eziyimirizaawo amaka ate n’okwekulaakulanya.
Wano we yasabidde abakyala bonna mu ggwanga buli omu okufuba okubaako ky’akola ekireeta ssente mu maka ate nga ne bwe baba bazifunye, bazikozese n’obuvunaanyizibwa so si kuzisaasaanyiza mu bintu oluusi ebitagasa nnyo.
Jovia Kalenzi omu ku bakulembeze mu kkanisa eno yakuutidde abakyala bulijjo obutanoba naddala nga beekwasa ensonga y’obwavu wabula bafube okukola ne babbabwe ate nga bwe basaba Mukama okusobola okubayisa mu bisoomooza.
Francis Kalenzi Omusumba w’ekkanisa eno yakuutidde buli Munnayuganda okuba abakyala ekitiibwa kubanga bakola ebintu bingi eby’omuwendo naddala mu biseera by’okuzaala omwana n’okukuza.