Amawulire

Mmeeya wa Kyengera  asuubiza abalowooza nti teyasoma okubakubako ddiguli.

Mmeeya wa Kyengera, Mathias Walukagga katono asse abadigize enseko bwe yakabatemye nti obudde bwonna amaliriza okusoma ddiguli ku yunivaasite.

Walukagga yasinzidde ku Rose Gardens mu Kyengera bwe yabadde akuba abadigize emiziki n’asekerera aba abalowooza nti teyasoma n’abategeeza nga bw’ali ku yunivaate ya IUIU nti ng’obudde bwonna ajja kubayita ku matikkira ge, balye n’okunywa basindise bigere.

Kino kyasanyudde nnyo abawagizi abaabadde bazze okunyumirwa emiziki gye era olw’amaze okuwulira ebigambo ebyo ne batandika okusaakanyiza waggulu nti ‘’Kye kyo mmeeya wa Kyengera Ever Smart’’.

Walukagga yabadde yaakaggya bino mu kamwa n’omubaka wa Busiro East, Medard Lubega Sseggona ng’ono naye n’acamula abadigize bwe yanyenyeza ekiwato n’aleka ng’abantu bamutenda.

Abalala abaayimbye kwabaddeko, Maureen Nantume ne Stabua Natooro.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });