Amawulire

Batandise okuzimba nga bakozesa obucupa.

Ekibiina kya Butakoola Village Association for Development (BUVAD) e Kayunga kyongedde okusomesa abantu engeri y’okukozesa obucupa bwa pulasitiika okuzimba amayumba mu kaweefube w’okukendeeza obulabe obuleetebwa obucupa obumala gamansibwa.

Akulira BUVAD, Steven Ssemutumba yagambye nti obucupa buno bukosa obutonde bw’ensi omuli okwonoona ettaka, okuzibikira emifulejje ne kivaako amataba n’okwongera obucaafu. Obucupa bwa pulasitiika omuli obunywerwamu amazzi, soda n’ebyokunywa ebirala babukuhhaanya ne babupakiramu ettaka nga likkatiddwa bulungi ne babuteeka mu kifo omutatuuka nnyo musana okumala ennaku nnya.

Ettaka bwe liguma ne babuzimbisa. Ssemutumba agamba nti ekisenge ekizimbiddwa nga bakozesa obucupa kibeera kigumu nnyo era babukozesezzaako okuzimba ttanka z’amazzi, kaabuyonjo n’amayumba. Agamba nti enkola ey’okuzimbisa obucupa yaakutaasa obutonde bw’ensi nga kimalawo obucupa obubadde busaasaana buli wamu n’okutaasa ebibira ebibadde bitemebwa okwokya bbulooka ezizimbisibwa. Ssemutumba agambye nti e Kayunga essira balitadde mu ggombolola nnya agakola essaza ly’e Bbaale okuli; Galiraaya, Bbaale, Kayonza ne Kitimbwa

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top