Amawulire

Okufa kwa Asia kukubye abantu encukwe.

Okufa kwa Asia Namirembe 25, kukubye abantu b’e Kamwokya ne Bannayuganda naddala ababadde bamugoberera ku ‘tiktok’ encukwe.


Asia abadde akoze erinnya ku ‘social media’, naddala tiktok olw’ebyo by’abadde akola ebibadde binyumira abawagizi be. Ono yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago gye yatwaliddwa oluvannyuma lw’okufuna okulumizibwa mu lubuto.
Maama we, Jesca Nakkonde, omutuuze mu Mulimira Zzooni e Kamwokya era nga y’abadde abeera ne Asia yagambye nti yasoose kukaaba lubuto okumala ennaku ssatu kwe kumutwalako mu kalwaliro akali okumpi okufuna obujjanjabi, wabula omusawo n’abasindika mu ddwaaliro eddene afune obujjanjabi obusingako.
“Bwe twatuuse e Mulago, abasawo baatukozeeko ne bazuula ng’ebyenda byali byalwala dda. Baamulongoosezza n’adda bulungi engulu, kyokka embeera yagenze etabuka era n’afa mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano.”
Karimu Isabirye, taata wa Asia yagambye nti bo ng’abazadde bayise mu kusoomoozebwa kungi nga bakuza omwana waabwe kyokka w’abadde atandikidde okweyagala n’abantu okumutegeera ennyo naddala ku mutimbagano, ate w’afiiridde.


Joseph Kakooza, ssentebe wa Zzooni ya Mulimira, Asia gy’abadde abeera ne bakadde be, yagambye nti ng’ekitundu bafiiriddwa nnyo omwana waabwe akuze nga buli omu amulaba kyokka mu kiseera w’afuukidde ‘ssereebu’ kumpi nga buli Munnayuganda amumanyi ate n’afa.
Olumbe lwa Asia lwakumiddwa e Kamwokya mu zzooni ya Mulimira, waakuziikibwa mu bitundu by’e Kaliisizo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top