Amawulire

 Bp. Kagodo akoze enkyukakyuka mu baweereza  bw’e Mukono.

Omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo akoze enkyukakyuka mu baweereza mu bifo eby’enjawulo mu bulabirizi.

Mu nkyukakyuka zino ezibadde zirindiriddwa okuva lwe yatuuzibwa mu ntebe ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano, alonze Rev. Ven. Godfrey Ssengendo gwe yavuganya naye ku kifo ky’obulabirizi okubeera Provost wa Lutikko y’e Mukono eya St. Firipo ne Ndereya.

Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvannyuma lwa Bp. Kagodo eyakirimu okusuumusibwa n’afuuka omulabirizi ng’adda mu bigere bya Bp. James William Ssebaggala.

Erinnya lya Ven. Ssengendo n’erya Canon Kagodo g’ego abiri akakiiko akasunsula ak’obulabirizi ge kaaweereza mu nnyumba y’obulabirizi olwo abalabirizi ne balondako Kagodo era yatuuzibwa ng’omulabirizi nga February 26, 2023.

Okulangirira kuno, omulabirizi yakukoledde mu lutuula lw’olukiiko olufuzi olw’obulabirizi obw’omulundi ogw’e 62 olwatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokutaano. Ven. Ssengendo y’abadde Ssaabadinkoni w’obusabadinkoni bw’e Nassuuti obusangibwa mu munisipaali y’e Mukono.

Ng’ayogera n’omusasi wa Bukedde ku Mmande, omuwandiisi w’obulabirizi bw’e Mukono, Canon John Ssebudde akakasizza amawulire gano n’agamba nti Bp. Kagodo era yakoze n’enkyukakyuka endala.

Canon Ssebudde emu nkyukakyuka endala agambye mulimu; Rev. Kenned Kampi aggyidwa e Buziika okufuuka Ssaabadinkoni w’e Nassuuti, Rev. Paul Ssegawa avudde e Ndeeba okugenda e Buziika ng’omumyuka wa Vviika, Rev. Joshua Luggya avudde e Mavunikire ng’afuuliddwa capuleyini w’omulabirizi ng’ono asikidde Rev. David Kuteesa eyali capuleyini wa Bp. Ssebaggala nga y’abadde akyatwala mu maaso omulimu ogwo. Ye Rev. Kuteesa Bp. Ssebaggala yagenda okuwummula ng’amutadde ku kkanisa ya St. James-Ggwafu e Seeta ng’omusumba waayo.

Mu nkyukakyuka endala; Mubuulizi Derrick Kaddu abadde atwala w’ofiisi y’amawulire ey’obulabirizi nga yazzeeyo kusoma ku UCU yaggyiddwa mu woofiisi eyo n’asindikibwa e Mavunikire mu busumba bw’e Kiyunga, Kaddu yasikiziddwa Moses Ssewankambo nga kati y’akola ng’ow’amawulire w’obulabirizi.

Canon Ssebudde era ategeezezza nti Rev. Noah Nsubuga, omusumba w’abayizi ow’essomero lya Bishop S.S yalondeddwa okukwasaganya ensonga z’abakozi mu bulabirizi bw’e Mukono, Rev. Samuel Sserwadda okuva ku Centenary Community College mu disitulikiti y’e Kayunga yasindikiddwa mu Busaabadinkoni bw’e Kasawo ng’omumyuka wa Vviika sso nga ye Rev. Apollp Ssegawa okuva e Nddba yasindikiddwa Buziika nga Vviika.

“Omulabirizi era yalonze Rev. Ignatius Kabuuka, Ssaabadinkoni w’e Kangulumira ne Ven. Ssengendo okufuuka ba Canon. Enkyukakyuka zino zigenda kuteekebwa mu nkola mu mwezi gwa June ne July omwaka guno,” bw’ategeezezza.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });