Ebyobufuzi

EBITIISA KU KABINENTI EMPYA: Waliwo Baminisita abagenda okugobwa

EBITIISA KU KABINENTI EMPYA: Waliwo Baminisita abagenda okugobwa

Waliwo amawulire agali mu nkuubo za State House ne mu bitongole ebikessi nga galaga nga Pulezidenti Museveni bwaliko enkyukakyuka zagenda okukola essaawa yonna mu Baminisitabe.

Enkyukakyuka zeezimu era zizuubirwa essaawa yonna mu maggye nebitingole ebikessi.

” Embeera eri mu ggwanga siyeeyabulijjo . Ebifo bingi ebinene ebirimu abalwadde, ebirimu abaafa, ate nokwelumaluma kungi mu banene abamu. Waliwo nabaleese omuzzanyo mu kisanja kino ekintu Muzeeyi kyatayagala” omu ku bantu baffe abomunda bwe yategeezezza omusasi Ono.

Ensonda eggulo zaategeezezza nti Pulezidenti y’abadde alina lisiti yamanya gaasindikidde abantu be yeesiga batera okukwasaganya nabo bwaba alina Baminisita abapya baleeta oba baayagala okugoba.

Abantu bano kuliko abali mu ISO ne mugandawe Gen Salim Saleh. Zaayongeddeko nti waliwo ebigambibwa nti Ngogyeko minisitule ezitaliimu Bantu ngeyebyamateeka ekyawaliriza Pulezidenti okugiwa minisita Matia Kasaija ate ngera ye minisita wa minisitule yebyabakozi, waliwo Baminisita abalemeddwa emirimu.

Abamu ku bano balwadde, abalala balimu oluvubi lungi, abamu batandise ate okwonoona ekibalo kyebyobululu mu 2026 naddala mu Kampala nebyalo.

Waliwo minisita mu Kampala gw’e bagamba nti akutte bubi ensonga zabanakibuga ekitandise okunyiiga abalonzi ate Baminisita abalala bali mu kwegagawaza oba okwabikira mu nkiiko mukifo kyokukolera awamu. Bino webigyidde nga waliwo entalo ezigenda mu maaso mu Baminisita ba Pulezidenti Museveni abenjawulo ezikanze abantu abamu nga bagamba nti Gavumenti yandiba ngeyuuga.

Kigambibwa nti mu kabineeti mulimu Baminisita abepinga ekiyinza okuleka ebituli mu buwereza. Omu ku Bantu baffe yanokoddeyo ekyokulabirako kya ssaabawolereza wa Gavumenti munnamateeka Kiryowa Kiwanuka azze  ngawakanyizibwa minisita munne omubeezi owebyettaka munnamateeka Sam Mayanja.

Bano wadde balina okukwatagana kyokka bazze bawukana ku nsonga eziwerako omuli Ettaka lye Nagguru, ebyokuliyirira abagagga olwokuyisa pulojekiti za Gavumenti ngamasanyalaze nendala ku ttaka lyabwe nensonga za Buganda’.

Enjawukana zabwe ezigambibwa nti tezitandise Kati era ziyingiridde nemirimu gya minisita webyettaka  Judith Nabakooba. Ensonda mu lukiiko lwabaminisita zaategeezezza nti waliwo Baminisita bangi abaterabawo abawanyisiganya ebisongovu, okwezimuula oba  okwekuba bodde mu nkuubo nga babadde beesanze.

Zaayongeddeko nti kino kirina engeri gyekikosaamu empereza ya Gavumenti.

Gyebuvuddeko waabaddewo olukonko olwamaanyi era olutanaviirawo ddala wakati wa ssabaminisita Nabbanja ne minisita webiggwatebiraze Hillary Onek.

Bano baabadde bafafaaganira ssente obuwumbi 5 Nabbanja zeyabadde atema ku bajeti ya Onek eyobuwumbi 15 zokka.

Kigambibwa nti Onek akyali musunguwavu olwomukazi ono ayagala okumuyisaamu amaaso.

Ate e Masaka nayo waliyo Baminisita abavaayo abali ku mbiranyi eyamaanyi okuli ne minisita wa jjegejjege Kasolo  ne minisita omulala omukazi( amanya galekeddwa) .

Olutalo lwa bano lwasitusizza nomumyuka wa ssentebe wa NRM, Al Hajj Moses Kigongo okubakakanya. Ensonda zaayongeddeko nti ne minisita wensonga zamawanga agomuliraano era omumyukyuka wa Katikkiro asooka Rebecca Kadaga alina baminisita nabanene mu Gavumenti abamuwunyira ziizi nga ne sipiika Jacob Oulanyah nomumyukawe Anita Among  bwe balina ababwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top